Amawulire

Akulira eggwanika lya Buganda ow'ekitiibwa Waggwa Nsibirwa akkaatiriza ku bukulu bw'okuweerera abaana

MUMYUKA wa Katikkiro wa Buganda ow’okubiri era omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa, akunze  bannayuganda okufaayo okusomesa abaana n’okubayigiriza ebintu eby’ejawulo,  okutereeza ebiseera byabwe eby’omumaaso.

Bp Banja wakati, omumyuka wa katikkiro wa Buagnda owookubiri Robert Wagwa Nsibirwa ku kkono nomukulu wessomero lya Luzira SS Peter Hormisdas Ssenyimba ku mukolo
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Abadde ku mukolo gw'okwebaza Katonda  ku ssomero lya Luzira SS ebirungi byalituusizzaako,  bweribadde lijaguza okuweza emyaka 42 bukyanga litandikibwawo, omukolo gw’okusaba gwakulembeddwaamu omulabirizi w’e Namirembe Bp. Moses Banja.
Minisita Nsibirwa agambye nti,  nti abantu bangi tebandibadde  kyebali leero singa tebaasoma, kuba kukusisinkanya abantu ab’omuwendo, abalimu empeke era ab'ebitiibwa mu nsi,  ng’oli tafaayo wa gy’ova oba gyewasomera, wabula olw’obuyigirize bwo.
  Asabye abayizi okunnyikiza eddiini kuba ebakuumiramu empisa naddala mu mulembe guno ogwa Social Media omuli byebawulira ebingi ebitabagasa, nabasaba okunyweerera ku mulamwa gw’okusoma  nga baawuliriza eddoboozi lya katonda eriyitira mu basomesa ne bazadde baabwe, baasobole okutuuka ku buwanguzi mu nsi.

Bp Moses Banja

Bp Moses Banja

Ye omulabirizi Bp. Moses Banja akuutidde abayizi okuwuliriza omulanga gwa ssabasajja Kabaka okukuuma obutonde bw’ensi  yaffe Uganda nga basimba emiti, okutaliza entobazzi  n’okubukuuma obutayonooneka,  kubanga katonda yabutuweesa mikono ebiri era ensi endala nyingi ezitwegomba.
Ono ataddeko abayizi b’essomero lino abasobye mu 30 emikono nebayingira mu kkanisa ya mukama, n’abakuutira okukuuma ekigambo kya katonda n’okukyagazisa abalala, okunyweerera ku ddiini obutagivaamu kubanga ebakuumiramu empisa ez’obuwanguzi.

Bp Banja ngateekako abayizi ba Luzira SS emikono

Bp Banja ngateekako abayizi ba Luzira SS emikono

Omukolo gwetabiddwaako abantu ab’enjawulo okubadde; abaasomerako mu ssomero lino, amakampuni agakolagana n’essomero, emikwano, abakulu b’amasomero amalala naddala agali ku musingi gw’ekkanisa, bannabyabufuzi okubadde;  Mmeeya w’e Nakawa PauL Mugambe, Loodi Mmeeya omulonde owa Kampala Ronald Balimwezo, Omubaka Omulonde owa Nakawa East Fredrick Ruhindi n’abakulembeze abalala.
Oluvannyuma waabaddewo okusonda ssente okumaliriza ekizimbe ky’emyaliiro ena ekizimbibwa,  nga kino omwaliero ogusooka gwawedde,  kati banoonya ssente ezisoba mu bukadde 900 okumaliriza emyaliiro egisigadde.

OMUKULU w'essomero lya Luzira SS Peter Hormisdas Ssenyimba

OMUKULU w'essomero lya Luzira SS Peter Hormisdas Ssenyimba

Bakungaanyizza ssente obukadde obusobye mu 100  eza buliwo n’ezeetemeddwa (pledge,)  nebasaba abantu owongera okubadduukirira.
 Akulira essomero lino Peter Hormisdas Ssenyimba yagambye nti,  omukolo gubadde gwa kwebaza Katonda olw’obuwanguzi bwebatuseeko mu myaka gino 42 n’ebituukiddwaako omwaka oguwedde omubadde okuyisa obulungi abayizi ba siniya ey’okuna neyo’omukaaga nga baasobola okufunayo abayizi 4 abaamalayo obubonero bwonna 20 ku siniya ey’omukaaga, nebabeera abamu ku basinze mu ggwanga, bano essomero libawadde amabaasa amazito  okubeebaza.

omumyuka wa katikkiro wa Buagnda owooubiri era omuwnaika wa Buagnda Robert Wagwa Nsibirwa

omumyuka wa katikkiro wa Buagnda owooubiri era omuwnaika wa Buagnda Robert Wagwa Nsibirwa

Okutumbula okusoma kw’ebyemikono, eby’emizannyo n’ebirala, n’ategeeza nti Luzira SS balina abayizi bangi  3,200, nga bandiyagadde okuyingiza abalala,  naye olw’obufunda bw’ekifo tebasobola, naasaba abazirakisa okubakwasizaako okwongera  okuzimba ebizimbe ku ssomero lino lyongere okuyamba omwana w’eggwanga.
Abakulembeze b’e Nakawa nga bakulembeddwaamu loodimeeya omulonde Ronald Balimwezo, bategeezezza nti Luzira SS lye ssomero lya gavumenti lyokka lyebalina mu kitundu, nebasaba gavumenti okulyongera obuyambi lyongere okutwala abaana abangi
Tags: