Akubye mukyala we akakumbi n'amutta naye bamutaayiza ne bamukumako omuliro

ENTIISA ebuutikidde abatuuze be Kasebuti mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu omusajja bw'abase akakumbi n'akakuba mukyala we ku mutwe naafiirawo ng'amulumiriza okumugatta n'omusajja omulala.    

Omwami n'omukyala nga kati bombi bagenzi
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
ENTIISA ebuutikidde abatuuze be Kasebuti mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu omusajja bw'abase akakumbi n'akakuba mukyala we ku mutwe naafiirawo ng'amulumiriza okumugatta n'omusajja omulala. 
 
Kino kijje abamu ku batuuze mu mbeera naye ne bamukuba emiggo egimusse n'omulambo ne bagwokya,poliisi weetukidde esanze bisiriiza.
 
Omwogezi wa poliisi mu Masaka East Twaha Kasirye ategeezezza nti omukyala eyatiddwa ye Resty Nakanwagi 40 ng'ate bba naye abatuuze gwe basse oluvannyuma ye Simon Kakuru 53.
 
 
Kasirye annyonyodde nti Kakuru abadde amaze emyezi ebiri ng'addinganye ne Nakanwagi gw'alinamu omwana omu oluvannyuma lw'okumala ebbanga lya myaka esatu nga bawukanye.
 
Kigambibwa nti Kakuru abadde akolera mu bitundu by'e Villa Maria yakomyewo ku kyalo n'afuna olugambo nti Nakanwagi abadde aliko omusajja omulala gw'abadde apepeya naye ng'avuddewo agenze ku mirimo.
Abakungubazi nga bali mu lumbe

Abakungubazi nga bali mu lumbe

 
Kakuru obusungu yabugye mu bbaala gye yasookedde era olwatuuse ewaka yatandikiddewo oluyombo ng'alumiriza Nakanwagi obwenzi,okukakana ng'amusse.
 
Sentebe w'ekyalo kino Hasifah Namyalo yagambye nti Nakanwagi eyattiddwa abadde muwala we .
 
Yategeezezza nti okulaajana kw'omukyala ono kwe labudde baliraanwa be nti kyokka we baatukidde okumutaasa baamusanze agudde mu kitaba ky'omusaayi ng'amaze okufa.
 
Yagambye nti bano bebaakubye enduulu eyaleese abalala abaasanze ng'omutemu akyali mu kisenge ne bamusikambulayo mu busungu ne batwalira amateeka mu ngalo.
 
Poliisi weyatuukidde ng'emirambo giweze ebiri era olwamaze okwekeneenya ekifo ne gigibwawo ne gitwalibwa mu ggwanika e Masaka okwekebejjebwa. 
 
Kasirye ku lwa Poliisi yavumiridde obutabanguko mu maka n'ebikolwa by'okutwalira amateeka mu ngalo n'ategeeza nti batandise okunoonyereza ku bali emabega w'ensonga eno.