Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda Dr.Samuel Stephen Kazimba Mugalu alabudde Bannayuganda okukomya omuze gw'okwerowoozako bokka nga n'abamu batta bannaabwe olw'ebyenfuna n'ategeeza nti abantu bateekwa okubaako ne kyebayiga ku Bajulizi ba Uganda abaafiririra Eddiini.