Agambibwa okuvuga ng’atamidde asse bana

ABANTU bana be bafiiriddewo, n’omulala omu n’atwalibwa mu ddwaaliro ng’aliko kikuba mukono oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje. Bano kigambibwa nti baatomeddwa emmotoka ekika kya Toyora Wish nnamba UBA 398V ebadde eva mu bitundu by’e Mukono ng’edda e Katosi ku mwalo mu disitulikiti y’e Mukono.

Agambibwa okuvuga ng’atamidde asse bana
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU bana be bafiiriddewo, n’omulala omu n’atwalibwa mu ddwaaliro ng’aliko kikuba mukono oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje. Bano kigambibwa nti baatomeddwa emmotoka ekika kya Toyora Wish nnamba UBA 398V ebadde eva mu bitundu by’e Mukono ng’edda e Katosi ku mwalo mu disitulikiti y’e Mukono.

Ddereeva w’emmotoka eno, eyategeerekese nga Brian Kalibbala ne munne gwe yabadde naye, Dickson Lukyamuzi baakwatiddwa ne baggalirwa ku poliisi e Mukono nga kigambibwa nti we baakoledde akabenje, baabadde batamidde.

Kigambibwa nti baasoose kutomera ppikipiki eyabadde evugibwa Robert Kizito ne bamuttirawo n’omusaabaze gwe yabadde aweese, eyategeerekese nga Christopher Musisi Ssentongo. Abalala abaafudde kuliko, Mushimyemana ne Lukenge, nga bombi bavubi ba mukene ku mwalo gw’e Katosi. Sipiika wa Town Council y’e Katosi, Nicholas Nsubuga yategeezezza Bukedde nti, bangi ku bagoba b’ebidduka mu kitundukyabwe tebalina bisaanyizo ate nga bavugisa kimama era kyandiba nga kye kyavuddeko akabenje. Frolence Nakayemba, owooluganda lwa Kizito owa bodaboda, yategeezezza nti eggulolimu, emmotoka eno yalabiddwaako nga yeetawula mu kitundu kyokka ng’abagirimu bagivuga bubi. Omubaka wa Mukono South mu Palamenti, Fred Kayondo yategeezezza nti kya nnaku okulaba ng’abavubuka bazannyisa ebidduka ne batuuka n’okutwala obulamu bw’abassaalumanya. “Teebereza Christopher abadde yaakamaliriza okuzimba ennyumba ye.

Tagibaddeemu kabanga kawera n’afa mu bintu ebitaliimu,” Kayondo bwe yategeezezza. Atwala Poliisi mu kitundu kino, Ali Fauzi yategeezezza nti oluvanAgambibwa okuvuga ng’atamidde asse bana nyuma lw’akabenje, abantu abatannaba kumanyika bazze ne babulawo ne ppikippiki eyeenyigidde mu kabenje ate emmotoka eyavuddeko akabenje kano n’etwalibwa ku Poliisi y’e Kisoga ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Wabula Kalibbala eyabadde avuga emmotoka yategeezezza nti owa bodaboda ye yavuddeko obuzibu bwe yawetedde mu maaso gaabwe okudda gye yabadde ava ate nga waabaddewo akaserengeto. JB Wamala, omu ku batuuze eyabaddewo ng’akabenje kagwawo yagambye nti, emmotoka eno yasoose kumwegezaamu okumutomera akawungeezi kyokka n’agitebuka kyokka ekyamuggye enviiri ku mutwe kwe kuwulira nti eriko abantu b’esse. Charles Mwebe naye yategeezezza nti Christopher Musisi Ssentongo yawuliddwaako nga yeemulugunya ku mmotoka eno eyabadde evugibwa abavubuka (Brian Kalibbala ne munne Dickson Lukyamuzi) olw’engeri gye yabadde ewenyukamu obuweewo kyokka ebyembi y’omu ku be yasse