OMUWALA agambibwa okutta mukwano gwe amusuzaako e Nakawa asindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga September 22, 2026.
Patricia Rose Turindwamukama 21, ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu mu kkooti ya Cityhall n’amusomera emisango ebiri okuli ogw'okutta Jovia Namuwulya n'okubbisa eryanyi.
Kigambibwa mu kiro kya August 20, 2026 Turindwamukama omutuuze mu zzooni ya Mukalazi mu diviizoni y'e Nakawa n'omulala akyanoonyezebwa yabba Namuwulya gwe yali abeera naye ebintu bye okuli essimu ekika kya Iphone 12 promax ebalirirwamu obukadde 2, ensawo y'omu ngalo ebalirirwamu emitwalo 15, engoye ezibalirwamu emitwalo 20 ne paasipooti ye era n’amufumita ekiso n’amutta.
Ono omulamuzi teyamukkiriza kubaako ky’ayogera olw'omusango okuba nga gwannaggomola oguwulirwa kkooti enkulu yokka
Omuwaabi wa Gavumenti Mercy Yamangusho Khaidara yategeezezza nti okunoonyerezza kukyagenda mu maaso mu ssango n’asaba omulamuzi okugwongezaayo.Yamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga 22 omwezi guno.