Ab'oludda oluvuganya balabudde Gavumenti

MINISITA w’ekisiikirize owa mawulire n’okulwanyisa enguzi Joyce Baagala akubye ebituli mu alipoota ya kaliisoliiso wa gavumenti  nti ku buwumbi  obusoba mu 86 obubaweebwa buli mwaka okulwanyisa enguzi mu ggwanga okununulako obuwumbi 7 n’obukadde 99 bwokka  kyoleka bunafu obufumbekedde mu kitongole   era n’abakubiriza obuteebakira ku mulimu.

Omubaka Kiwanuka ku kkono, Joyce Baagala wakati ne Kawalya
By Teopista Nakamya
Journalists @New Vision

MINISITA w’ekisiikirize owa mawulire n’okulwanyisa enguzi Joyce Baagala akubye ebituli mu alipoota ya kaliisoliiso wa gavumenti  nti ku buwumbi  obusoba mu 86 obubaweebwa buli mwaka okulwanyisa enguzi mu ggwanga okununulako obuwumbi 7 n’obukadde 99 bwokka  kyoleka bunafu obufumbekedde mu kitongole   era n’abakubiriza obuteebakira ku mulimu.

Mu lukung'aana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku palamenti, Bagala yagambye nti ekitongole ekirwanyisa engusi ekikulirwa Beti Kamya kisaanye kireme kuttira liiso ku muntu yenna agambibwa okwenyigira mu muzze gw’okulya enguzi obutafiiriza ggwanga.

Kasse 10 (10 trillion) eggwanga lyezifiirwa buli mwaka mu nsonga z’okuyigga abali b’enguzi yalaze nti mpitirivu era nga kyamumalamu amaanyi  okuwulira  ekitongole mu kwanja alipoota  nga  kye wanira mu maaso ga sipiika w’eggwanga ng’enguzi bwe kendedde.

Okugyimalawo, akiwabudde okwanika nga abantu be kibeeera kikutte  basobole okukola nga eky’okulabirako eri abalala.

Awakanyizza eky’omukulembeze we ggwanga okuyimirizza kaliisoliiso okunoonyereza ku by’obugagga bya bannamaggye kyagamba nti kikontana nakawayiro akomusanvu mu   tteeka lya bakulembeze (Leadership Code Act) akalagira buli mukulembeze yenna okuwayo eby’obugagga bye mu lwatu okunoonyerezebweko .

Yalaze nti ku bakulembeze 32,0000 abaalina okunoonyerezebwako kyannaku nti 26541 bokka be bafunako.

Asabye gavumenti eteekewo etteeka erikuuma omuntu  alina  obuvumu obulonkoma abali be nguzi ewa kaliisoliiso kiyambeko abo abaggyema okuzuulwa  era bakolebweko  .

Ababaka abalala okuli Dr. Abed Bwanika( Kimanya Kabonera), Abdullah Kiwanuka( Mukono North) ne Abubaker Kawalya( Rubaga North) balabudde kaliisoliiso obutagoberera biragiro bimuwebwa bantu ab’enjawulo wabula akole kyatekeddwa okukola nga ssemateeka bwa mulagira nga si nga anabigondera ba kumukuba mu mbuga za mateeka kubanga ajakuba atyobodde  ssemateeka.