Omukulu w'ekika ky'Engo, Omutaka Keeya Namuyimba Muteesasira ayanjudde Katikkiro w'ekika omuggya, Munnalotale Lubowa Ssebina Gyaviira ng'ono yazze mu bigere bya Yinginiya Kavuma Kiwanuka.
Waabaddewo Akatale Omwatundiddwa Ekifaananyi Ky'omutaka Keeya Namuyimba ( Ali Ku Ddyo).
Omukolo guno gwabadde ku butaka bw'ekika kino obusangibwa e Buteesasira mu ssaza ly'e Butambala ku Lwomukaaga December 9, 2023 era Muteesasira n'amwaniriza okujja mu buwereeza bw’ekika n’amwagaliza emikisa.
Omutaka Muteesasira era asinzidde ku mukolo guno n'akubiriza abazzukulu bonna okuyigiriza abaana ennono yaabwe ekwata ku kika n'Obuganda okutwalira awamu.
Omutaka Keeya ( Ku Ddyo Wakati) Omukulu W'ekika Ky'engo Ng'akwasa Katikkiro W'ekika Kino Omuggya, Munnalotale Lubowa Ssebina Gyaviira Ava Mu Ssiga Lya Nakyejjwe, Omuggo Ogw'obuyinza.
Ye Lubowa Ssebina Gyaviira enzaalwa y’e Kyaali Buddu yeeyanzizza obwami obwamuweereddwa era bw’atyo ne yeeyama okugondera Omutaka Muteesasira ne Kabaka ng'atuukiriza obuvunaanyizibwa obumukwasiddwa.
Lubowa Gyaviira yajjukizza Abengo obuvunaanyizibwa obukulu bwe balina okutuukiriza okuli okununula embuga ya Muleme Muteesasira eyasooka nga kyetaaga obukadde 11 n'okumaliriza enju y'Obutaka eyeetaaga obukadde 80,okukuuma obutonde n'okusitula abavubuka.
Wano Nga Basala Kkeeki Okwekulisa.
Omukolo guno gwategekedwa ab'essiga lya Kiseyeeye erikulirwa Juma Ssenabulya era bano baatongozza Kiseyeeye Foundation egenda okuyamba okutumbula enkulaakulana mu ssiga nga Ssentebe w’Abengo Twezimbe James Kavuma ye yakoze omukolo ogwo.
Kwabaddeko abagenyi okuli Omutaka Kasujja Sheba Kakande Kibirige, akulira ekika ky'Engeye, Omutaka Kagenda Mulindwa Luyombo, Katikkiro w'ekika ky'Emmamba era ng’omutaka Muteesasira yasaze kkeeki okujaguza emyaka 11 bukya atuuzibwa ku bukulu buno nga August 25, 2012.