Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde abanene abasuubira okulya ssente z'amafuta ga Uganda n'akabatema nti zirina kukozesebwa kukola biyiiriro bya masannyalaze n'enguudo z'eggaali z'omukka abazzukulu n'abazzukulu za ba Uganda baziganyulwemu.

Pulezidenti Museveni ku mukolo gw'okutongoza erinnya ly'amafuta amapya agagenda okusimibwa.
Museveni asinzidde mu disitulikiti y'e Kikuube ku mukolo ogw'okutuuma Crude Oil wa Uganda erinnya gwe yayise "Pearl Sweet Crude" erigenda okumutunda mu katale k'ensi yonna n'ategeeza nti ssente ezigenda okuva mu mafuta ga Uganda nga gatandise okusimibwa zirina okukozesebwa ebintu ebinaabeerawo emyaka n'emyaka