Amawulire

Abazigu ababbira ku ppiki batadde ab'e Komamboga ku bukenke

ABATUUZE b’e Komamboga baagala ebitongole ebikuumaddembe okusitukiramu ku kibinja ky’ababbi ekitambulira ku pikipiki ne binyagulula abantu. 

Abazigu ababbira ku ppiki batadde ab'e Komamboga ku bukenke
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

ABATUUZE b’e Komamboga baagala ebitongole ebikuumaddembe okusitukiramu ku kibinja ky’ababbi ekitambulira ku pikipiki ne binyagulula abantu.

 

Bano kigambibwa nti batambulira ku pikipiki ssatu nga buli emu ebeerako  abantu basatu abatuuze bagamba nti babeera n’ebissi  okuli n’ejjinja lya minzaani nga bwe bakuteebereza okuba ne ssente bakukiika pikipiki ne batandika okwefuula nga abakubanja n’ekigendererwa ky’okuwuddiisa abandikudduukiridde.

 

Racheal Kawala, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yagambye nti ebibinja by’ababbira ku bodaboda kinene wabula poliisi ekyagenda mu maaso n’okukifefetta nga gye buvuddeko waliwo abaakwatibwa , yasabye abantu buli omu okuba mbega wa munne.

 

Michael Buyondo ssentebe wa Kanyanya Komamboga yagambye nti abavubuka bafuuse ekizibu basala amabaati , bakuba ebituli mu mayumba ne banyagulula  nga buli wiiki bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze nga kati obubbi obusinze okubeewanisa emitima be batambulira ku piki piki.

 

Yagambye nti  enguudo ze basinga okubbirako  kuliko lwa Kizannyiro , olwa Waligo n’endala  bwe bakusibirako piki babuukako bonna ne batayirizza wakati ne beefuula abaludde nga bakunoonya nti bakubanja oluvannyuma bakuggyako buli kimu ky’olina ne babuukira pikipiki zaabwe ne bagenda.

 

Noah Mukasa ssentebe wa Komamboga Central yategeezezza nti ababbi bano batambula n’mayinja ga minzaani n’ebiso  bye bakozesa okutemula abantu  nga tebakyaliko budde.

 

Yagasseeko nti abazadde mu kitundu bayitiridde okugaanira abaana baabwe nti babbi era olukolongoola baluteeka ku bakulembeze n’abatuuze abamu nti babawalana.

 

Tags:
Amawulire
Bunkeke
Komamboga
Ppiki