Abadigize abali mu kivvulu kya Yolo festival ekiri e Kololo mu kisaawe ekigenda okusalawo embiranye wakati w'abayimbi Sheebah ne Cindy bawaga.
Bano nga batandise okuyingira ku ssaawa munaana mu ttuntu bugenze okuwungeera ng'ennyiriri mpanvu nzibu nga buli omu yeeyuna kuyingira kufuna kafo ka kumwanjo w'anaanyumirirwa.


Bakira abawagizi ba buli ludda bakuba ennyimba ezisoomooza abalala nga bwe beewaana ng'omuyimbi waabwe bw'asinga.
Ku ssaawa nga kumi n'emu abakozi abadda ewaka nabo basanze akaseera akazibu olw'akalippagano akamaanyi akabaddewo ku nguudo ezigatta ku kisaawe anti ng'abantu bangi kyokka nga n'aba bbooda abali mu ludda lw'oluguudo nga nabo tebaseguka.
Ekivvulu kino kyakusala empaka z'omuyimbi asinga okukikuba wakati wa Sheebah ne Cindy ezibaddewo okumala ebbanga eddene.