Abatuuze abagobaganyizibwa mu bibanja batabukidde ssentebe nga bamulanga okubalyamu enkwe

SSENTEBE w'ekyalo, abatuuze bamutunuzza ebikalu bwe bakimutaddeko nti assuse okubalyamu enkwe ng'akukuta n'abagagga ababatuuzizza ku nkato olw'okubasindiikiriza ku bibanja byabwe.

Ssentebe Ssaalongo Flugyensio Buyondo ng’annyonnyola abatuuze .
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#abatuuze #abagobaganyizibwa #bibabja #batabukidde #ssentebe

Bya Ssenabulya Baagalayina

SSENTEBE w'ekyalo, abatuuze bamutunuzza ebikalu bwe bakimutaddeko nti assuse okubalyamu enkwe ng'akukuta n'abagagga ababatuuzizza ku nkato olw'okubasindiikiriza ku bibanja byabwe.

Bano batuuzizza olukiiko mwe bamukunyirizza abannyonnyole ku bagagga abaasenze ennimiro zaabwe ne baleeta n'endokwa z'emmwaanyi bazisimbemu.

Okugugulana kuno kuli ku kyalo Biriinzi - Bukakatta mu Masaka Rural ng'abatuuze gye batabukidde ne ssentebe waabwe wa LCI, Ssaalongo Flugyensio Buyondo.

Kino kiddiridde poliisi okukwata n'eggalira amyuka Ssentebe w'ekyalo kino, Victor Kasozi ng'alangibwa okukuliramu abatuuze balemese abagagga okukolera ku ttaka erikaayanirwa.

Abamu Ku Batuuze Abeetabye Mu Lukiiko.

Abamu Ku Batuuze Abeetabye Mu Lukiiko.

 

Mu lukiiko lwe batuuzizza, Kasozi abategeezezza nti poliisi ng'ekolera ku biragiro by'abagagga bamutaddeko akakwakkulizo k'okubakomako baleme kulinnya ku ttaka ly'amugagga okulemesa abakozi be okukola mirimu gye.

Emmanuel Kizza ne Denis Muganga ,Peter Wasswa n'abalala babuulidde abatuuze nti ettaka kwe bagobaganyizibwa likyali mu mikono gya Gavumenti nga Public Land era terikolwangako kyapa.

Babagumizza nti babbulooka b'ettaka bagezaako kubayita ku litalaba nga bakola olukujjukujju okulijjingirirako ekyapa  balifuule ery'obwannanyini.

Sipiika wa disitulikiti, Francis Kimuli, Kansala Jude Ssekiwunga n'aba LC II Francis Kironde baweze nti tebajja kukkiriza bantu baabwe kusindiikirizibwa, abatono abanoonya okwekkusa bokka.

Ssentebe wa NRM e Ssunga, Godfrey Bukenya abawagidde nti Pulezidenti Museveni emyaka gyonna ng'omuluka guno aguwangulira waggulu mu kalulu naye emivuyo gy'ettaka bwe gy'atandika ne bagumuwangulamu.

Wano Ssentebe Buyondo yeerwanyeko nti abagagga abamusibwako talina gw'amanyi kuba tebamweyanjulirangako era n'abakozi baabwe tabamanyi.

Kino kinnyiizizza abatuuze okuli: Bosco Kavuma, Leo Ssekiziyivu, Emmanuel Ssali n'abalala ne bamulangira obukuusa kuba bulijjo abayisaako pikipiki ng'agenda okubasisinkanira mu nnimiro.

 Ssentebe Buyondo byonna abiyise bya ppa nti bamusibako matu ga mbuzi olw'abo abaagala okumuddira mu ntebe.

Sipiika Kimuli abakakkanyizza nti ensonga agenda kuzoogeraganyamu ne bakulu banne batuuke ku nzikiriziganya.

 Abatuuze basigadde bawera obutaggyibwako ttaka lino.