Bya Godfrey Kigobero
EMMUNDU 4 zisuuziddwa okuva ku bannansi b'eggwanga lya South Sudan, abagambibwa okuba nga babadde bayingidde nazo mu ggwanga okuzeeyambisa mu bukyamu.
Bino byabadde mu Kidepo National Park mwe bagambibwa okuba n'ekigendererwa eky'okutta ebisolo ebikuumirwa mu kifo kino era mu kuwanyisiganya amasasi, baasobodde okusuulawo emmundu nnya ne babulawo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, era ategeezezza nga bwe baliko bbomu enkolerere gye bazudde ku ssundiro ly'amafuta e Bunyangabo, era baasobodde okugitegulula.