BA OFIISA ba poliisi basindikiddwa mu kkomera lwa kwenyigira mu bufere bwa zzaabu.
Bano kuliko Siraje Waiswa 30 ng’akola n’ekiwayi ekya VVIP ng’abeera Nabweru, Razak Emuorut 26 ng’akola ne CT VVIP ng’abeera kabalagala, Benon Waiswa 30 ng’akola ne CT tactical ng’abeera Naguru ne Ayub Kulutu 30, ng’akola ne CT VVIP ng’abeera Naguru.
Abaserikale bano bonna bali ku ddaala erya Police Constable baasimbiddwa eggulo mu kkooti ya City Hall maaso g’omulamuzi Nicholas Aisu n’abasomera omusango gw’okwekobaana okuzza omusango.
Bonna baagwegaaanyi kyokka babadde baagala okusaba okweyimrirrwa n’abasinidka mu kkomera okutuusa nga September 7, 2026 lwe banaasaba.