Abas Byakagaba akubirizza abasirikale okwettanira SACCO ya Poliisi
OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba alagidde abaserikale nadala abali ku madaala aga wansi okujjumbira ssente ezinabayamba mu biseera byabwe ebyómumaaso nadala nga bawummudde emirimu gyékiserikale okusinga okwewola
Byakagaba ng'ayogera eri abasirikale ba Poliisi
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba alagidde abaserikale nadala abali ku madaala aga wansi okujjumbira ssente ezinabayamba mu biseera byabwe ebyómumaaso nadala nga bawummudde emirimu gyékiserikale okusinga okwewola
Bweyabadde ayogerera mu lutuula lwa SACCO abaserikale ba poliisi mwebatereka ssente zaabwe eya Exodus SACCO olwatudde ku kitebe kya poliisi e Naguru ku Lwokuna, Byakagaba yagambye nti abaserikale bangi bafunye ebizibu mu bye nsimbi nga kino kivudde ku kuba nti abamu balemeddwa kutereka ate ne bagenda ne bewola ekisusse ne balemwa okufisaawo ezinabayamba.
Abasirikale nga bali mu lukiiko ne mukama waabwe
"Twagala embeera zammwe zibeere nnungi nga namwe mufunye okuterekawo kemufisizza ku misaala gyammwe akanaabayamba mu biseera ebyómumaaso okusinga omusasaanya emisala gyammwe n'abamu ne muddukira mu kwewola ate ne mutayambibwa nnyo"Byakagaba bweyakuutidde abaserikale.
Yagambye nti ebyenfuna binyize abaserikale abamu ne baddukira mu kwewola abamu ne batuuka okusingayo emisaala gyabwe nga ku nkomerero yómwezi tebalina kyebafisaawo ne beyongera okwenyika mu bizibu n'abakunga okwetanira SACCO yaabwe eya poliisi okusobola okuyambibwa.