ABANTU abasoba mu 500, bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi mu bitundu bya Kampala Metropolitan South.

Ekimu ku bissi ekigambibwa okukwatibwa nabo
Ekikwekweto, kiyindidde mu bitundu omuli, Nateete, Katwe, Nsangi, Kajjansi era nga babadde baanukula omulanga gw'abatuuze n'abasuubuzi olw'obubbi bw'amasimu , obusawo , Pikipiki , okumenya amayumba n'okuteega abantu bye bagamba nti bisusse.
Ebintu ebiwerako omuli ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya, enjaga, amajambiya n'ebintu ebigambibwa okuba ebibbe, bizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa.

Ebimu ku biragala bye baabasanze nabyo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti, abakwatiddwa bakuumirwa ku poliisi ez'enjawulo omuli ey'e Katwe, Kajjansi ne Nateete ng'okubasunsulamu, bwe kugenda mu maaso.