ABALI b’enva balidde ne bakomba n’engalo mu kivvulu ekyategekeddwa pulezidenti waabwe Kayibanda Sseguya ekyatuumiddwa World Pork Day.
Kayibanda Ku Kifi ky'ey'oluwombo.
Ekivvulu kino kyabaddewo ggulo ku Ssande ku Royal gardens e Nansana ng’ennyama yategekeddwa mu ngeri ez’enjawulo okwabadde ensiike, enfumbe ey’oluwombo, enjokye n’endala.
Kayimba ye yakulembeddemu abali obwedda abasikaasikanya nga balaga bawoomerwa bya nsuso.
"Kangunywe Gunkwate" omukyala ono bwe yalabise nga bw'agamba.
Kayimba yasabye embizzi etongozebwe ku bintu ebitwalibwa ku buko ng’ogenda okuwasa omukyala esoboleokwongera okutumbuka n’okufuna ekitiibwa okuva mu kuvumwa nga abangi bwe bagitwala.
Suuna Ben Ng'akutte Akagerere.
Oluvannyuma abali bafuukuddwa endongo y'ebinyaanyanyaanya eya Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny nga bali wamu n'Omutaka Julius Ssebwato Kikadde Komanda.
Ssebwato ng'aluma akagere.