ABAZIGU abaalondoola omusajja eyali aweese ensawo ne bagimubbako mu ppaaka ya ttakisi y’omu Kisenyi ku Ggwanda poliisi ebatutte mu kkooti oluvannyuma lw’okubanoonyeza akaseera nebakwata.
Bano poliisi ya Old Kampala yabalondodde nebakwata okuva mu bitundu ebyenjawulo omuli néyali akutte ejjambiya eyagigalulira omusajja eyai agezaako okubalemesa okutwala ensawo omwali ssente 63,400,000 era kamera yókukizimbe nekwata akatambi .

Abaamu ku baakwatiddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Rachael Kawala yagambye nti abazigu balondoola omusajja eyali aweese ensawo nebagimujjako nga February 22 , 2026 nga byambisa ejjambiya oluvanyuma nebabadduka .
Yagambye nti abaserikale ku poliisi ya Old Kampala batandika omuyigo gwókuzuula abazigu era mukaaga kubbo nebakwatibwa okuli Abdul Swamadu Juma ngóno mu katamb yeyalabika nga agaludde ejjambiya ng’atema eyali agezaako okubalemesa okutwala ensawo.

Abamu ku baakwatiddwa nga balinnya kabangali y'emmotoka
Abalala ye Ronald Mwesige omuvuzi wa bodabooda ku Kafumbe Mukasa okumpi ne Owino , Asuman Baihuta omugoba wa bodabooda ku Hanys ku Lubaga Road , Elvis Isabayo naye nga augoba wa bodabooa , James Muhizi ne Brigton Kasasira amanyiddwa nga Soft.
Yategezezza nti Abdul Swamadu Juma ne Kasasira babadde bakayibulwa okuva mu makoera olwokwenyogira mu misango ebirala.