Amawulire

Abagambibwa okuyingirira abantu n'amajambiya bakwatiddwa poliisi

Abakwatiddwa, kuliko William Engulu 37 nga mukuumi w'ekitongole ky'obwannannyini, ne Paul Mutabaazi 21 nga mutuuze mu Kabaawo zzooni e Mutundwe.

Abagambibwa okuyingirira abantu n'amajambiya bakwatiddwa poliisi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu babiri abagambibwa okweyambisa ebijambiya mu kuyingirira abantu mu mayumba, okubateega ne bababba, bakwatiddwa poliisi e Nateete.

Abakwatiddwa, kuliko William Engulu 37 nga mukuumi w'ekitongole ky'obwannannyini, ne Paul Mutabaazi 21 nga mutuuze mu Kabaawo zzooni e Mutundwe.

Okubakwata, kiddiridde ebigambibwa nti mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa nga musanvu, basudde emisanvu mu kkubo mu zzooni ya Kweeba e Mutundwe mu Lubaga diviizoni ne babba abantu 3 ababadde batambulira ku bodaboda wakati mu kubatiisa n'amajambiya.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti abaserikale ababadde mu kulawuna, bayanguye ne bakwatako bano ababiri nti Owookusatu n'adduka era nga naye bamuyigga.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kukwatibwa
Kuyingira
Bantu
Bijambiya