Amawulire

Abagambibwa okubbisa eryanyi n'ebijambiya ku ppiki bakwatiddwa

ABANTU abalala bana abagambibwa okuba mu kibinja ekibbisa ebijambiya ku pikipiki, bakwatiddwa ne babaggalira ku bunyazi obw'enjawulo.

Abagambibwa okubbisa eryanyi n'ebijambiya ku ppiki bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU abalala bana abagambibwa okuba mu kibinja ekibbisa ebijambiya ku pikipiki, bakwatiddwa ne babaggalira ku bunyazi obw'enjawulo.

 

Bano, abana, bagenda kugattibwa ku ffayiro y'abalala omukaaga, abaasooka okukwatibwa ne basindikibwa ku limanda ku misango gy'okubbisa eryanyi mu bitundu bya Kampala , Mukono ne Wakiso.

 

Abakwatiddwa kuliko Yasin  Ssemanda amanyiddwa nga Zanda, Ramathan Jjingo nga yeeyita Rama, Cohen Kasumba amanyiddwa nga Farouk  ne Erick Musoke.

 

Omukaaga abasooka okukwatibwa , kuliko Ismail Kasozi, Shafik Mulindwa, Ivan Gizamba, Tomimu Kawaganya, Muhamad Kayira, ne Ivan Ongom.

 

Kigambibwa nti bano, beenyigira mu bubbi bwa ssente ezisoba mu bukadde 25 okuva ku ssundiro ly'amafuta e Kasubi - Makerere- Kikoni Rd nga Aug 11, obubbi obulala bwa bukadde 4.8 n'essimu ya IPhone 16 Pro Max, Omukuufu okuva ku musuubuzi ku Kawaala Rd nga July 24.

 

Obubbi obulala kigambwa bwali Wampewo, bwe baatwala obukadde 327, e Kiwaatule obukadde 35, Ntinda Kalinaabiri obukadde 15, e Kamwokya obukadde obusoba mu 13, e Namugongo obukadde obusoba mu 33, n'obukadde 620 okuva mu Forex Bureau ku Kampala Rd.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bano abana , bagenda kutwalibwa mu kkooti bagattibwe ku ffayiro ya bannaabwe omukaaga, abaasooka okukwatibwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
pikipiki
Lyanyi
Bijambiya