ABADDE omwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi, Apollo Tayebwa, akwasiddwa ofiisi ng'omutabaganya wa poliisi n'omuntu wa bulijjo (CLO) mu kitundu kya Kampala Metropolitan East .
KMP East, mwe muli poliisi ya Jinja Rd, Kira rd, Kira Division , Seeta , Mukono, Mbalala ne Naggalama. Ofiisi eno, ebaddemu Achilles Atwebembere era ng'omukolo gw'okugimukwasa , gukubiriziddwa akulira bambega mu kitundu ekyo, nga y'akiikiridde RPC.
Gwetabiddwako abakungu ba poliisi ab'enjawulo okuva mu KMP East n'abantu ab'enjawulo.