ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensansaanya y’omuwi w’omusolo basindise akulira eby’embalirira mu ddwaliro ly’e Mubende Daniel Mangeni eri poliisi enonyereza ku misango okunnyonnyola butya bwebeyambisa obukadde obusoba mu 548 obutaali mu mbalirira yaabwe kyokka nga bwabaweebwa okuva mu minisitule y’eby’ensimbi.
Omubaka Gorret Namugga ng'akunya abakungu b'eddwaliro
Munsisinkano akakiiko gyekabaddemu n’abatwala eddwaliro lya Mubende Regional Referral Hospital mu kwekenenya okwemulugunya kwa ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti okw’omwaka gw’eby’ensimbi 2023/24, kizuuliddwa nga eddwaliro lino lyafuna obuwmbi 13 n’obukadde 919 nga embalira kyokka ate newabaawo obukadde 548 obwabaweebwa nga buno tekimanyiddwa bwali bwaki.
Ababaka ku kakiiko okubadde ssentebe waako Muwanga Kivumbi ne Fredrick Angura bakunyiza Mangeni lwaki ensimbi zino teziri mu bibalo bya ddwaliro ate nga nebyezisasaanyizibwako tebiliko wabula ono nalemererwa nasaba okumuwa akadde okwetereeza.
Akakiiko kasazeewo okusindiika Mangeni eri CID okunyonyola ku nsimbi zino era amyuka ssentebe waako Gorreth Namugga agambye wandibaawo ekobaane wakati wa minisitule y’ebyensimbi n’ebitongole bya gavumenti okukumpanya ensimbi y’omuwi w’omusolo.
Ababaka nga bali mu kakiiko
“Kino kyandiba nga tekiri ku Mubende yokka, wandibaawo abanene mu minisitule y’eby’ensimbi ababeera bagala okubba nebefuula abawereza ebitongole ssente ate oluvanyuma nebazijjayo nga beyambisa ebitongole bino nga omuwaatwa okubba ensimbi ezandizimbwe amalwaliro n’amasomero era bajja bakwatibwa.” Namugga bwategeezezza.