Ababadde bayiye ebintu bya ssekukkulu okubitundira ku nguudo KCCA ebiboye

Nov 13, 2024

ABASUUBUZI ababadde batandise okweyiwa ku nguudo okutunda ebintu bya Ssekukulu bakiguddeko abaserikale ba KCCA bwe baboye ebintu byabwe nókubaako be bakwata.

Ababadde bayiye ebintu bya ssekukkulu okubitundira ku nguudo KCCA ebiboye

Eria Luyimbazi
Journalist @Bukedde

ABASUUBUZI ababadde batandise okweyiwa ku nguudo okutunda ebintu bya Ssekukulu bakiguddeko abaserikale ba KCCA bwe baboye ebintu byabwe nókubaako be bakwata.

Abaserikale nga bakutte omu ku bavubuka.

Abaserikale nga bakutte omu ku bavubuka.

Bino byabaddewo ku Lwokubiri abamu ku basuubuzi bwe bayiye emaali yaabwe ku mbalaza okutandika okutunda ebintu bya ssekukulu  omwabadde Christmas Tree ebyókutunda ,egoye wabula abaserikale ba KCCA ne babibabowako ne babitwala.

Abasuubuzi babadde bayiye ebintu byabwe ku luguudo lw'omu Kikuubo, Nakivubo Road , ku lubalaza lwa Mukwano Arcade , Luwum Street, ne Ben Kiwanuka Street n'abalala ne babeera mu ppaaka za ttakisi.

David Ojur eyakuliddemu abaserikale ba KCCA ng'abawerekerwako poliisi ekkakkanya obujagalalo yagambye nti abasuubuzi abamu babadde batandise okweyiwa ku nguudo ne batandika okutunda ebintu omuli engoye, engatto naddala ebya Ssekukkulu so nga tebakkirizibwa.

Yagambye nti bonna abaagala okutunda ebintu basigaleyo mu butale n'amaduuka kuba bonna abanaalemera ku nguudo baakukwatibwa n'okubowa ebintu byabwe kuba kimenya mateeka.

Yategeezezza nti mu kikwekweto kino waliwo ababadde batundira ku nguudo ne badduka n'ebintu byabwe babiyingizza ebizimbe wabula nga nayo bayingiddeyo ne babikukunulayo ne babitwala 

Register to begin your journey to our premium content .