Amawulire

Abaana b'essomero baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvannyuma lw'okufuna akabenje ku piki-piki

ABAANA babiri ab'essomero n'omuvuzi wa pikipiki,  baweereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw'akabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende. 

Abaana b'essomero baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvannyuma lw'okufuna akabenje ku piki-piki
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAANA babiri ab'essomero n'omuvuzi wa pikipiki,  baweereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw'akabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende.

Poliisi ekutte omujaasi ow'e Kabamba Military Garrison agambibwa okuvugisa ekimama, n'akoona abantu bano abasatu, ababadde batambulira ku pikipiki. kyokka abaduukirize pikipiki , bagibbye.

Akabenje , kagudde  ku kyalo Kagave ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende mu Mityana district.

Abalumiziddwa ; kuliko Ritah Nansubuga 10, nga muyizi ku ssomero lya Kyankowe day and boarding P/S  ng'abeera Nakitooro mu Ggombolola y'e Ttamu e Mityana.

Omulala ye Anita 6, omuyizi ku ssomero lya St. John Paul Nursery and P/S nga naye abeera Nakitooro , wamu n'omuvuzi wa bodaboda , atannamanyika bimukwatako.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti bakutte dereeva w'emmotoka premio nnamba UBA 363T agambibwa okuvugisa ekimama n'avaako akabenje kan

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: