Amawulire

Abaana 80 bateereddwaako emikono ku kkanisa ya St James Kyabaggu

Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira agambye nti wakati mu kusoberwa n'okuboonabona mu nsi , Yesu ly'ekkubo n'amazima n'obulamu

Omulabirizi Luwalira ng'asala Cake n'abaana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira agambye nti wakati mu kusoberwa n'okuboonabona mu nsi , Yesu ly'ekkubo n'amazima n'obulamu

Ategeezezza nti mu kiseera kino ebintu biri ku buseere, obubbi n'ettemu bingi, enjala nyingi e Karamoja nga n'awamu bakaaba kyeya olw'omusana omungi , nti naye tusaana okubeera abagumu era twongere okunywerere ku Mutonzi .

Abaana nga bamaze okussibwako emikono

Abaana nga bamaze okussibwako emikono

Bino Omulabirizi Luwalira abyogeredde ku Kannisa ya St James Kyabaggu e Masajja ku Luguudo lw'e Busaabala bw'abadde assaako abaana abasoba mu 80 emikono leero

Agambye nti omuntu alina okukkiriza tawugulwa mbuyaga ne bweba nnyingi era n'akuutira abaana abassiddwako emikono okubeera abanywevu 

Awerekeddwako Ssabadinkono w'e Mmengo Rev Can Isaaca Mmembe Kijjambu so ng'era omwawule w'e Masajja Rev Godfrey Kyanda abaddewo

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: