Bano ebadduukiridde ne kkiro z'obuwunga emitwalo ebiri n'ez’ebijanjaalo emitwalo ebiri ebikwasiddwa abatuuze mu muluka gw'e Kiragga e Lwabenge mu Kalungu.
Omu ku batuuze ng'atwala emmere ye.
Obuyambi bubakwasiddwa minisita omubeezi ow'amazzi n'obutonde bw'ensi Aisha Ssekindi n'omubaka wa Kalungu East mu Palamenti Francis Katabaazi Katongole ssaako ssentebe wa LCV, Ahmad Nyombi Mukiibi.
Minisita Ssekindi nomubaka Katabaazi n'abalala nga bakwasa omukadde omugabo gwe.
Ssentebe wa LCIII ow'eggombolola eno David Balemeezi Ssegawa ku lw'abantu be asiimye Gavumenti okubadduukirira ate n'ebawa bingi okusinga ebibadde bibaweerezebwa bulijjo.
Ssentebe Mukiibi agasse eddoboozi n'eryomumyuka wa RDC Miriam Kagiga Mugisha okukubiriza Bannakalungu okuba obumu olwo batambuze emirimu gyabwe kinnawadda.
Abatuuze nga bakung'aanidde ku ggombolola okufuna ebyabwe.
Mukiibi naye asiimye Gavumenti olw'ebirungi by'ekoze nga kino eky'okuwa abantu emmere kyokka n'asaba nti n'ebitatambula bulungi bakkirizibwe okubyogerako.
Omubaka Katabaazi ne Ssekindi nabo baggumizza eky'okutambulira awamu mu buweereza bwa Bannakalungu ne bavumirira abakyalemedde mu njawukana z'ebyobululu.
Abantu abafunye emmere eno naddala abakadde basanyuse ne beebaza gavumenti okwanukula omulanga gwabwe.
Comments
No Comment