Apollo Kivebulaya ye yannyikiza enzikiriza y'Ekikristaayo wano mu ggwanga era ono yafa mu myaka nga 80 egiyise.
Ssaabadinkoni Ven. Can Gitta Kavuma yagambye nti abantu basaanye okubeera abaguminkiriza nga Apollo bwe yali okusobola okutuuka ku buwanguzi.
Ssabadinkoni W'e Ntebe, Can Gitta N'omusumba W'obusumba Herbert Zziwa.
Waabaddewo n'okusonda ensimbi z'okuzimba ennyumba z'abaweereza ku kkanisa. Ensimbi ezeetaagibwa zikunukkiriza mu buwumbi 3.
Mu kifo kye kimu era waateekegekeddwaawo omwoleso ogwatwalidde ddala ennaku nnya nga abawereza boolesa emidaala okuli eby'amaguzi.
Ye omusumba w'ekkkanisa eno Rev. Nathan Mulondo yategeezezza nti baakuzimba kalina ya myaliiro esatu nga na bwe kityo bakyetaaga ensimbi okumaliriza omulimu gwa Mukama.
Ssentebe wa LCV ku disitulikiti e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika asinzidde wano n'avumirira amasinzizo agamerukawo buli kaseera nga tagaliiko kulung'amizibwa kwonna n'asaba wabeewo etteeka eritondebwawo okulung'amya enzirukanya y'ekkanisa.