Kampuni ekola amata eya Royal Milk ewagidde enteekateeka ya Bukedde ffama ey'okuduukirira abawuliriza baayo ab'Omukatanga ku Mmande ya wiiki ejja nga October 23, 2023.
Enteekateeka eno bajanjulidde ku ttabi lyabwe ery’e Nansana nga bawaddeyo liita 1000 eza Royal Milk ze baakwasizza maneja wa Bukedde ffama Herbart Yawe Kabanda ne Michael Mukasa Ssebowa akulira Olupapula lwa Bukedde.
Kitunzi wa Royal Milk, Sudaisi Kirunda agamba nti basanyufu okwegatta ku Bukedde ffama ng'ejaguza emyaka 15 ate ng’omulamwa gwa Bukedde ogw’okuduukirira abantu nabo gwe baliko nga Royal Milk.
Kirunda akubirizza abantu okunywa amata ga Royal Milk kubanga malungi eri obulamu bwabwe ate nga ga muntindo n’ekirala gakolebwa wano kitegeeza buli agwanywa abeera awagidde enkola ya Buy Uganda Build Uganda (BUBU).
Aba Bukedde famire baweereddwa amata ga Royal Milk okuduukirira abantu b'omu Katanga
Maneja wa Bukedde Ffama, Kabanda yasiimye abantu abawaddeyo era n'asaba abantu abalala beegatte ku nteekateeka eno wamu n'okujja mu bungi mu Mbuutu y'Embuutikizi e Kavumba.
Bukedde okugenda mu Katanga ky’ekimu ku bikujjuko by’okuweza emyaka 15 ng’eweereza abantu era entikko y’ebijjaguzo yakubaawo ku Ssande nga 29th October e Kavumba.
Okuyingira kugenda kuba ku mutwalo ng’abayimbi ba Uganda bonna abalungi bakubaayo okwo gattako ba DJ Suuna Ben n’abalala.