Bya Moses Lemisa
ABAYIZI aba Hiqmah Junior school erisangibwa e Gangu mu Wakiso be bamu ku baakoze obulungi ne batenderezza nga pass PLE wa Bukedde bw'abayambye okukola obulungi.
Ibrahim Nduga nnannyini ssomero yabawadde sseddume w'ente n'embuzi ne babirya omucomo ng’ono yagambye nti abayizi baakolanga' waaka' okuva mu lupapula lwa Bukedde era ng’abayizi abaasinga baasumbuwanga nnyo abasomesa ku bye batategedde.
Ibrahim Nduga (ddyo) Nnannyini Ssomero Lya Hiqmah Junior School N'abamu Ku Bayizi Abaakoze Obulungi.
Omukulu W'essomero Lya Hiqmah Junior School Erisangibwa E Gangu Ku Lw'e Busaabala Ng'akwasa Abayizi Abaakoze Obulungi Embuzi.
Abamu ku bayizi abaakoze abaayitidde mu ddaala erisooka kuliko; Sudais Tamale afunye 9, Sumayiya Yikpamungu afunye 10, Abdulwahab Ssebankyaye afunye 7 ,Alice Nagawa afunye 11, Mushitab Kalule 12, Abdularahman Katongole afunye 10, Uthman Mbuga Kyeyune afunye 12 n’abalala
Nduga yagambye nti baatuuzza abayizi 64 ng’abaayitidde mu ddaala erisooka bali 37 abalala bayitidde muddala lyakubiri.
Yagasseko nti ensonga ezibaviriddeko okukola abazadde babadde bafaayo okuwa abayizi ebyetaagisa saako n’okubakyalira , Pass PLE wa Bukedde naye akoze ky’amaanyi okulaba ng’abayizi bakola bulungi .