Aba Booda batendekeddwa okulwanyisa obubenje

ADUUMIRA Poliisi y'Ebidduka e Kakiri mu Disitulikiti y'e Wakiso  ASP Asiyo Immaculate asabye abavuzi ba Bodaboda mu Ggwanga okussa ekitiibwa mu mateeka g'oku Nguudo nga emu ku ngeri eyinza okuyambako okukendeeza ku muwendo gw'abantu abafiira mu bubenje ku Nguudo.

Aba Bodda nga babasomesa
By James Magala
Journalists @New Vision

ADUUMIRA Poliisi y'Ebidduka e Kakiri mu Disitulikiti y'e Wakiso  ASP Asiyo Immaculate asabye abavuzi ba Bodaboda mu Ggwanga okussa ekitiibwa mu mateeka g'oku Nguudo nga emu ku ngeri eyinza okuyambako okukendeeza ku muwendo gw'abantu abafiira mu bubenje ku Nguudo.

Saf 5

Saf 5

Okwogera bino omuduumizi wa Poliisi y'ebidduka e Kakiri ASP Immaculate Asiyo asinzidde ku Ggombolo y'e Kakiri mu musomo ogwategekeddwa aba Kkampuni ya Prudential Insurance nga bali wamu n'aba Red Cross okubangula aba Bodaboda ku ngeri y'okulwanyisa obubenje ku Nguudo mu Kkampeyini yaabwe emanyiddwa nga SAFE STEPS.Asiyo asoose kusomesa ba Bodaboda ku ngeri entuufu gyebalina okukozesamu e Nguudo n'engeri gyabalina okweyambisa obubunero bwo ku Nguudo okulabanga tebafuna bub
Bw'abadde anyonnyola Asiyo agambye nti nga Poliisi bakizudde nti obubenje obusinze okutta abantu businze kuva ku bavuzi ba Bodaboda abatagobererera mateeka ga ku Nguudo ekibaviirako okuzesa abalala ensobi ezivaamu obubenje n'asaba aba Bodaboda okweddako.
Eno Abasomesa abalala okubadde Kassim Ssettumba okuva mu kitongole kya Red Cross nga ono asomesezza aba Boda ku ngeri gyebayiza okuddukirira Bannabwe ababa bagudde ku bubenje n'abajjukiza n'okwewala okuvuga endiima ku makubo.
Saf 1(1)

Saf 1(1)

Bo aba Bodaboda mu Division y'e Kakikiri nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Noah Bbuule basiimye Kkampuni ya Prudential Insurance olw'okubategekera omusomo guno ku nvuga ey'omulembe ne bategeeza nti bannabwe bangi bazze bafiira mu bubenje olw'obutamanya kituufu kya kkola
 
Ku lwa Kkampuni ya Prudential Siraje Fufu eyaweebwa omulimo gw'okukunga aba Bodaboda agambye nti Kkampeyini eno ekigendererwa kyayo ekikulu kwekulabanga aba Bodaboda bakyusa enneyisa yaabwe ku makubo okulabanga obubenje bukendeera.