Amawulire

4 bakwatiddwa ku kufa kw'omutuuze e Buvuma mu bizinga

Ettemu, libadde ku mwalo gw'e Mubale mu muluka gw'e Bbuye mu ggombolola y'e Bugaya mu disitulikiti y'e Buvuma.

4 bakwatiddwa ku kufa kw'omutuuze e Buvuma mu bizinga
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu bana bakwatiddwa poliisi e Buvuma bayambeko mu kunoonyereza ku kuttibwa kw'omutuuze mu kitundu ekyo.

 

Ettemu, libadde ku mwalo gw'e Mubale mu muluka gw'e Bbuye mu ggombolola y'e Bugaya mu disitulikiti y'e Buvuma.

 

Attiddwa, ye Benjamin  Teshene 37 omutuuze mu kitundu ekyo bwe bafunye obutakkaanya n'agambibwa okuba muganzi we Phiona ku loogi za Lydia Nakanyike.

 

Kitegeezeddwa nti omugenzi baasoose kufuna butakkaanya ne Phiona Muhumure nga n'ekiddiridde kumufumita kiso ekimusse.

 

Poliisi ekutte Phiona Muhumure, Esther Ntongo, Sofi Baluka ne Patrick Nzabahimana, Bayambeko ku poliisi mu kubuuliriza ku ngeri omugenzi gy’attiddwamu.

 

Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti n'ekiso ekigambibwa okukozesebwa mu ttemu, nakyo kizuuliddwa ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

 

Tags:
Amawulire
Buvuma