Abantu bana bafiiridde mu bubenje obw’enjawulo e Busoga , n'abalala 28 ne baweebwa ebitanda nga bafunye ebisago eby’amaanyi.
Akabenje akasooka, kaabadde Buwoolya e Mayuge, emmotoka Fuso nnamba UAR 142M eyabadde etisse abasuubuzi ab’obutale, bw'egudde ne yeefuula n'ettirawo abantu basatu abalala 15 ne bafuna ebisago ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mayuge.
Akabenje akalala, kaabadde Butongole e Namutumba, mmotoka Drone nnamba UA 820BS bw'etomedde eggaali y’omukka omuntu omu n'afiirawo.
Afudde ye Tomasi Deyongera 70 omutuuze w’e Isegero e Nsinze mu disitulikiti y'e Namutumba.
Emmotoka ebaddemu abasaabaze ku 14 era nga 13 bo balumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro e Iganga okufuna obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso n'okuzuula amannya g'abagenzi n'abo abaalumiziddwa.