Abasisita b'e Nkokonjeru bakubye ebiragaano

Ky’abadde kinyenyamagi kyennyini Ababiikira b’ekibiina kya Little Sisters of St Francis abamanyiddwa ennyo ng’Abasista b’e Nkonkonjeru bwebaabadde bakuba ebiragaano n’okujaguza jubileewo mu Bunnaddiini.

Abasisita b'e Nkokonjeru bakubye ebiragaano
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Ky’abadde kinyenyamagi kyennyini Ababiikira b’ekibiina kya Little Sisters of St Francis abamanyiddwa ennyo ng’Abasista b’e Nkonkonjeru bwebaabadde bakuba ebiragaano n’okujaguza jubileewo mu Bunnaddiini. Omukolo gw’abadde mu Nnyumba Nakazadde ey’Ababiikira bano e Nkokonjeru, mu Disitulikiti y’e Buikwe ku Bbalaza nga Janwari 6, 2025. Gwatandise ne mmisa ey’ayimbiddwa Omwepiskoopi w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza ng’ali wamu ne Ssabasumba w’e Kampala, Paul Ssemogerere, Omwepiskoopi w’e Kasana-Luweero Lawrence Mukasa, ’Omwepiskoopi we Soroti Joseph Eciru Oliach, n’Abasaserdooti bangi.

Nkokonjeru

Nkokonjeru

Abasista 10 beebaakubye ebiragaano byabwe eby’olubeerera, nebeeyama okusigala nga Bannaddini mukibiina kino, obulamu bwabwe bwonna. Kubano kw’abaddeko Sr Mary Harriet Alako, Sr Mary Susan Namuliika, Sr Mary Resty Namusobya, Sr Mary Bernadette Nambogo, Sr Mary Bernadette Nawajji, Sr Mary Betty Namusabi, Sr Mary Patricia Among Tendo, Sr Beatrice Harriet Ajeso, Sr Mary Sylvia Namono, ne Sr Mary Glorious Turyasingura.

Abaasista 11 baajaguzza emyaka 25 mu Bnnaddiini. Ku bano kw’abaddeko Sr Mary Jane Harriet Nansubuga, Sr Mary Harriet Nakkazii, Sr Mary Olivia Achan, Sr Mary Antony Luyiga, Sr Mary Josephine Namuddu Namugerwa, Sr Rosemary Kakwezi, Sr Mary Bernadette Nakubulwa, Sr Mary Madrine Mukaluziga, Sr Mary Susan Tibasiima, Sr Mary Christine Nakayiza, ne Sr Mary Florence Nalumu.

Abasista 5 baakuzizza emyaka 50 mu Bunnaddiini. Kw’abaddeko Sr Mary Theopista Namirembe, Sr Ann Christine Auma, Sr Mary Stephania Nalubowa, Mother Mary Pauline Namuddu, ne Sr Mary Anthonia Namuli.

Bano bonna bazzizza bujja ebiragaano byabwe eby’obunnaddiini, okuli eky’obwavu, obuwulize n’obutukuvu, mu maaso ga Nankulu w’ekibiina kyabwe Sr Rita Christine Nakitende, ate oluvannyuma  Omwepiskoopi Christopher Kakooza n’abawa omukisa.

Omwepiskoopi Christopher Kakooza y’akulisizza abagole, n’abasaba okwongera okuweereza Katonda n’obwesigwa, nga batwalira abantu be okwagala kwe kweyalaga ensi bweyagitumira omwana we Yezu Kristu ajilokole.

Nkokonjeru

Nkokonjeru

“Bwetuba twagala okulaba Katonda, ffe ffenyini tulina okufuuka okwagala. Katonda y’atusindikira omwana we atuyigirize okwagala. Bw’oyagala muntu munno oba olaze okwagala kwa Katonda,” Omwepiskoopi bweyagambye.

Nankulu Sr Rita Christine Nakitende naye y’akulisizzza Abasista be era neyeebaza abo bonna abawagidde ngababawa obuyambi bw’ensimbi, okubakwatizaako n’okubasabira, nebasobola okutuukiriza obutume bwabwe.

Sr Pauline Namuddu ey’ayogedde kulw’abagole banne yeebazizza abazadde olw’okubazaala, okubagunjula obulungi, n’okubakkiriza okuyingira obunnaddiini. Y’asabye  Abakristu okusikiriza abaana baabwe okuyingira Obunnaddiini, n’obutakugira abo ababa babasabye okubuyingira.

Bamunsennyere abagenyi,okwabadde Ssabasumba Paul Ssemogerere, Omwepiskoopi Lawrence Mukasa n’Omwepiskoopi Joseph Eciru nabo baawadde obubaka ngabakulisa abajaguza n’okusiima omulimo ogw’ettendo Ababiikira b’e Nkonkonjeru gwebakoze mu Klezia wa Katonda mu Uganda n’emumawanga ag’ebweru omuli Kenya, Germany ne America.

Abaaole abaajaguzza jubileewo bonna Paapa Francis y’abaweerezza Omukisa gwe ogw’Obutume