Amawulire

Bro.Lutaaya owa  Mugwanya Preparatory School e Kabojja  avudde mu Bwabbulaaza n’awasa

EYALI akulira essomero lya Mugwanya Preparatory School e Kabojja, bbulaaza eyawummula, Godfrey Lutaaya 61, akubye embaga makeke ekyayogeza Bannakampala obwama.

Lutaaya n’omukyala nga bamema ku mbaga yaabwe..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Basasi baffe

EYALI akulira essomero lya Mugwanya Preparatory School e Kabojja, bbulaaza eyawummula, Godfrey Lutaaya 61, akubye embaga makeke ekyayogeza Bannakampala obwama.

Yagattiddwa n’omusawo omutendeke, Dorothy Lutaaya ku kiggwa ky’Omujulizi St. Andrew Kaggwa e Munyonyo ku Lwomukaaga, ng’embaga yeetabiddwaako abasoso­dooti abasoba mu 10 n’ebikonge eby’enjawulo.

Oluvannyuma lw’okugattibwa, Balutaaya baasembezza abage­nyi baabwe ku Serena Hotel mu Kampala ku mukolo ogwabadde ogw’ekitiibwa.

Omwami yabadde anekedde mu ssuuti enjeru erina ebiwujjo nga n’omugole omukyala an­ekedde mu kiteeteeyi ekyeru.

Lutaaya obuvubuka bwe bwonna abadde mu kibiina kya Brothers of Christian Instruc­tions era mw’akaddiyidde. Amaze emyaka 16 nga yaakulira essomero lya Mugwanya Prepa­ratory School, Kabojja, okutuusa lwe yawummudde mu 2022, era n’ava mu Bwabbulaaza.

Bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza nga bwe yawummudde obuweer­eza bw’obwabbulaaza era n’agattibwa mu bufumbo Obutu­kuvu n’omwagalwa we oluvan­nyuma lw’okugoberera emitendera gyonna.

Lutaaya N’omukyala Ku Mbaga Yaabwe.

Lutaaya N’omukyala Ku Mbaga Yaabwe.

 KYE YAKOZE KIKKIRIZIBWA

Lutaaya si ye munnaddiini asoose okubuvuvaamu era n’afuna obufumnbo obutukuvu oluvan­nyuma lw’okuwummula obuweer­eza obwo.

Babbulaaza bakuba ebi­ragaano ebyenjawulo nga muno mulimu abakuba eby’emyaka n’eby’olubeerera. Atakubye kya­lubeerera waddembe okubuvaamu w’aba asiimidde. Ategeeza ku bakama be bw’aba asiimye n’afuna obufumbo obutukuvu.

“Naweebwa ‘dispensastion’ nga luno lwe lukusa okukkiriza okukola ekyo ky’olina okukola ng’omaze kusaba,’’ Lutaaya bwe yategeezezza.

Kyakakasiddwa nti Lutaaya yagoberedde emitendera gyonna, olukusa olumukkiriza okuwasa yalufunye era yasoose kuyisibwa mu mitendera gyonna egikulem­bera okugattibwa ne munne y’ensonga lwaki embaga yaabwe teyabadde ya kyama era yasobodde okwetabwako baffaaza ne bannad­diini ab’enjawulo.

Lutaaya musajja muyimbi wa nnyimba za ddiini nnyo, era mun­nabyanjigiriza by’amazemu emyaka egisoba mu 20.

Ng’oggyeeko bannaddiini embaga eno yeetabiddwaako mikwano gye naddala abakulu b’amasomero.

Nga tan­neegatta ku Mugwanya Preparatory, ya­sooka kubeera mukulu wa ssomero lya Kisubi Boys okumala emyaka etaano.

Mu 2018, Lutaaya yawangula engule y’omusomesa ow’enkizo mu mpaka ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group.

 EKLEZIA ETANGAAZIZZA

Akulira ekkooti y’Eklezia n’okuluhhamya ku by’amateeka mu ssaza ekkulu erya Kampala, Rev. Fr. Dr. Andrew Kato, yanny­onnyodde nti eky’obwa Bbulaaza kitiibwa ekiweebwa omuntu aba asazeewo okwewongera Omukuma kyokka era Eklezia ewa bannaddi­ini omukisa okusaba okuwummula oba okumenyawo endagaano gye baba bayingiddemu singa babeera bagoberedde emitendera.

Agamba nti endagaano bannad­diini ze bakuba zaawukana; abamu bakuba za lubeerera abalala za ki­seera kyokka era Eklezia yateekawo omwagaanya ogubawa omukisa okuddirizaamu mu ndagaano zino singa wabeerawo obwetaavu.

Wabula yagambye nti bo abasosodooti endagaano bakuba za lubeerera ng’ekimu kye bal­agaanya Omukama bwe bulamu obw’okwesonyiwa Essaakalamentu lya matrimunyo era okwawukana ne babbulaaza bo bafuna ssaka­lamentu akabonero akalabika akategeeza enneema etalabika. Bw’ofuna essaakalamentu lya Orodiini toyinza ate kufuna lya matrimunyo.

“Tewali munnaddiini asobolo kugattibwa mu bufumbo nga Balu­taaya bwe baagattiddwa nga tayise mu mitendera gino,’’ Fr. Dr. Kato bwe yategeezezza.

Wabula agamba nti olw’okuba omuntu abeera asazeewo okukyusa obulamu, abeera takyayitibwa bbulaaza.

Tags:
Bro.Lutaaya
Bwabbulaaza
avuddemu
n'awasa