Abakulu b'ebika bategese Ttabamiruka okuwuliziganya n'abali ebweru

Jul 07, 2022

ABATAKA abakulu b'ebika mu Buganda bategese Ttabamiruka waabwe okuwuliziganya ne Bazzukkulu baabwe ababeera ebweru.Omukubiriza w'Olukiiko lwa Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Omutaka Augustine Mutumba Namwama era nga ye Mukulu w'ekika ky'ekkobe ategeezezza Bukedde emisana ga Leero nti bagenda kuba bayogerezeganya ku nsonga ez'enjawulo n'ababaka baabwe mu mawanga g'ebweru okuli Bulaaya n'ensi yonna okutwalira awamu

Omukubiriza w'Olukiiko lwa Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Omutaka Augustine Mutumba Namwama

Dickson Kulumba
Journalist @Bukedde

ABATAKA abakulu b'ebika mu Buganda bategese Ttabamiruka waabwe okuwuliziganya ne Bazzukkulu baabwe ababeera ebweru.
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Omutaka Augustine Mutumba Namwama era nga ye Mukulu w'ekika ky'ekkobe ategeezezza Bukedde emisana ga Leero nti bagenda kuba bayogerezeganya ku nsonga ez'enjawulo n'ababaka baabwe mu mawanga g'ebweru okuli Bulaaya n'ensi yonna okutwalira awamu.

" Emyaka ebiri giyise nga tetuwuliziganya na bazzukkulu baffe abo olw'obulwadde bwa kkolona kyokka twasazeewo ku mulundi guno tukozese omutimbagano okugabana nabo ebizimba ennono yaffe, " Namwama Mutumba bwategezezza.


Ttabamiruka ono agenda kubeerawo ku Lwomukaaga luno nga July 9,2022 wansi w'Omulamwa ogugamba nti "Ennono n'Obuwangwa mu bukulembeze bw'akakyo kano".
Abakulu b'ebika bagenda kubeera Bulange Mmengo olwo nga bayita mu nkola ya zoom gyonyiga ennamba 83550407127 n'okozesa ennamba 1234 okugwetabamu. 
Namwama agambye nti Ttabamiruka ono agenda kwongera okussa ensonga y'Ebika by'Abaganda ku mutendera gw'ebiseera by'ensi ey'omulembe oguliwo, Abataka n'abazzukkulu okugabana ku nsonga z'ennono n'obuwangwa ng'omubumbirano gw'obulamu bwaffe okuyimirirwa okututwala mu maaso.
Ebirala ebigendereddwamu kwe kwongera okutereeza ekifo ky'Ebika mu Buganda y'Omulembe Omutebe saako n'okwongera okuzimba Buganda mu Uganda nga tuluubirira entikko y'enkulakulana.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});