MNINISITA we by’enjigiriza n'ebyemizannyo Janet Kataha Museveni ategeezezza nti kyetaagisa okuzimba obuntu bulamu mu baana nga bakyali bato.
Bino bibadde mu bubaka bwe bwatisse omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za mawulire Mary Okurut e Kololo ku mukolo ekibiina ekibudabuda abaana abawala ki Uganda girl guides Association kwekingolezeza ebijaguzo byako eby'emyaka 100.

Hajati Kuluthum ng'awa obubaka ku nkuza y'abaana
Janet Museveni atenderezza omulimu omunene ekibiina kino gw’ekikoze mu kugunjula n'okussa obuntu bulamu mu baana ab'obuwala okuviira ddala ku myaka emito naddala nga babayigiriza okwenyigira mu mirimu gy'obwannakyewa n’obuntu bulamu.
Dr Kulthum Nabunya Muzaata Gumisirizza okuva mu KCCA,Ayogedde ku birungi by'omwana okuyingira mu kibiina kino omuli omwana okusobola okwelwanako naawa eky'okulabirako nti abaana bangi abafuna embuto mu kiseera ky'omuggalo bakizuula nga tekwali ali mu kibiina kya Girls guid era ono awabudde abalenzi n'abasajja okuwa abaana abawala ekitiibwa nga bakomya ebikolwa ebibakabasanya.

Akulira ekitongole kino Molly Akello agambye nti mu myaka 100 basobodde okukula mu namba y'a baana abawala abali mu kibiina kino era mu nsi yonna Uganda yeemu ku nsi ezisinze okukola obulungi.

Mi 9(1)
Nategeeza ekyokukula mu namba kibayambye okukola ebintu bingi okugeza mu biseera bya Corona baasobola okubudabuda abaana bangi abafuna embuto.
Uganda Girl guieds association kyatandikawo mu 1922 era baliko be basiimye okuli omuyiima wakyo Janet Museveni, Miria Kalule Obote n'abalala.