Buganda ekoze bulungi mu by'ensimbi mu myezi mukaaga egiyise

OBWAKABAKA bwa Buganda buyingiza ensimbi obuwumbi 70,452,662,874/- mu kitundu ekisooka ekya bajeti ya 2021-2022 okuva ku buwumbi 60,749,126,143/- ezaali zisuubirwa okuyingizibwa mu ggwanika wakati wa June-December 2021.“ Ssenyiga kkolona atukosezza nnyo nga Buganda naye nnina essanyu okutegeeza Obuganda nti wakati mu bukosefu bwetuyiseemu,tukoledde ddala bulungi mu byensimbi nga mu kiseera kino tuyimiridde ku bitundu 116% okusinzira ku nnyingiza eyasuubirwa mu bbanga ery’emyezi omukaaga egiyise,” Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa bweyanyonyodde.

Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa mu Lukiiko lwa Buganda nga January 17,2022
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda buyingiza ensimbi obuwumbi 70,452,662,874/- mu kitundu ekisooka ekya bajeti ya 2021-2022 okuva ku buwumbi 60,749,126,143/- ezaali zisuubirwa okuyingizibwa mu ggwanika wakati wa June-December 2021.

“ Ssenyiga kkolona atukosezza nnyo nga Buganda naye nnina essanyu okutegeeza Obuganda nti wakati mu bukosefu bwetuyiseemu,tukoledde ddala bulungi mu byensimbi nga mu kiseera kino tuyimiridde ku bitundu 116% okusinzira ku nnyingiza eyasuubirwa mu bbanga ery’emyezi omukaaga egiyise,” Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa bweyanyonyodde.

Olukiiko lwa Buganda olwatudde nga January 17,2022 e Bulange Mmengo

Olukiiko lwa Buganda olwatudde nga January 17,2022 e Bulange Mmengo

Embalirira y’Obwakabaka eya 2021/2022 ya nsimbi 121,498,253,285/- era Waggwa yawadde ensonga nnya ezongedde amaanyi mu ggwanika lya Buganda okuli ekkanzu n’obusuulu okuva mu batuuze ku ttaka lya Buganda nga kino kyaleeta 10,005,877,500/-, okusasulwa okuva ku bbanja eribanjibwa gavumenti eyawakati 6,000,000,000/-,Abanywanyi era Bannamukago 19,046,279,214/- n’oluwalo 653,721,795/-.

Obwakabaka bwali busuubidde okusasanya ensimbi 60,449,640,317/- mu bbanga lino kyokka okusinziira ku Waggwa ensasanya yeyongedde ebitundu 12 ku buli 100 okutuuka ku nsimbi 67,564,072,720/- ezaasasanyiziddwa.

Okusiga ensimbi n’okwekulakulanya 14,687,500,000/-, Emirimu mu Nkuluze 4,656,000,000/-, Eby’okulabirira ettaka 3,720,000,000/-,Okutumbula eby’enjigiriza mu Buganda 5,792,116,674/-,okugaggawaza n’okusitula ebyenfuna by’Abantu ba Buganda(Obwegassi) 13,436,352,028/-,Gavumenti ez’ebitundu 3,088,126,098/- n’ebirala byasasanyiziddwako ensimbi.

Dwa 1

Dwa 1

 Ebimu ku bituukiddwako mu mwaka gw'ebyensimbi

EBIMU KU BYAKOLEDDWA:

Okunyweza n’okuwagira obukulembeze mu bika. Abataka abakulu b’ebika baweebwa emisomo egy’enjawulo egigendereddwamu okutumbula enkulakulana mu bika.

Okwongera amaanyi mu buweereza ku mutendera ogwa Gavumenti ez’Ebitundu. Obuweereza ku ddaala lino bwongeddwamu amaanyi okuyita mu kufunira Abaami Abaamasaza bonna 18 ebidduka okubanguyiza okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka yonna gyebali mu bitundu bye batwala..

“Okutumbula obuweereza mu Masaza nga tweyambisa Tekinologiya. Abaami ba Kabaka Abaamasaza bonna 18 baaweebwa ebyuma bi kalimagezi okwongera okutumbula empeerezan’ezirukanya y’emirimu mu Masaza gaabwe wamu n’okutumbula empuliziganya ey’okumutimbagano (onlineplatforms), era nga za kuyungibwa ku mutimbagano gwa Yintaneeti okubasobozesa okwanguya emirimu,” Waggwa bweyategezezza.

Okutendeka abavubuka kukoleddwa okulaba nga babangulwa mu mirimu egitali gimu mwebasobola okuggya ensimbi ezibayimirizaawo.

  Obwakabaka buzimbye amalwaliro nga buli wamu n’aba Emirates Red Crescent (UAE) nga gano kuliko eddwaliro ly’e Nsangi mu Ssaza ly’e Busiro wamu n’eddwaliro ly’e Kalasa mu Bulemeezi.

“Amalwaliro gano gawedde okuzimba n’ebikozesebwa ebiweza ebitundu 70% biteekeddwamu. Ekiseera kyonnamu mwaka guno 2022, gagenda kutongozebwa gatandike okutuusa ku bantu ba Beene obujjanjabi. Tusuubiraabantu abawerera ddala 10,000 okufunanga obuweereza mu by’obujjanjabi okuva mu malwaliro gano buli mwezi,” Waggwa bweyategezezza.

Okukola emmerezo z’emmwanyi ku mbuga z’amasaza okutumbula enteekateeka y’Emmwanyi Terimba okwetoloola Obwakabaka. Kati obulimi bw’emmwanyi mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu bweyongedde