Abajaasi b'e Mbarara batandise okubagema Corona

Abakulembera ekibinja ky’amagye ekitwala obugwanjuba batongozza okugema abajaasi ku mukolo ogwabadde ku kitebe ky’amagye e Makenke mu kibuga kya Mbarara.

Bya  Ali  Wasswa

Abakulembera ekibinja ky'amagye ekitwala obugwanjuba batongozza okugema abajaasi ku mukolo ogwabadde ku kitebe ky'amagye e Makenke mu kibuga kya Mbarara.

Okugema kuno kutongozeddwa omumyuka wakulira ebyobulamu mu magye, Brig. Gen. Dr. Stephen Kusasira abaddewo mu linnya ly'omuduumizi w'ekibinja kino.

Batandise n'okugema  abajaasi ab'amadaala aga waggulu okutuuka ku b'amadaala aga wansi. Bino bibadde mu nkambi ku ddwaaliro lya  Makenke  Health Center  IV.

Brig. Gen. Kusasira   asabye  abaserikale okufaayo okwegema ekirwadde kino ekitadde ensi yonna ku bunkenke nga n'agamu ku mawanga agatuliraanye gazzeeyo ku muggalo.