Kiteeberezebwa nti waliwo omuntu ow'ettima abalabirizza nga baliko gye bagenze okunoonya ku ssente n'abookerera kyokka abatuuze abagyekanze ng'ebumbujja n'ebalemerera okuzikiza.
Balaajanidde abazirakisa nga Maama Fiina n'abakulembeze abalala okubajuna kuba basigadde mu bbanga ng'awokutandikira tebalabawo.
Abasobeddwa ye mukadde Aidah Nnabakooza amanyiddwa nga Jjajja Kyannaggolo ne muwala we Sharifa Ndagire ku kyalo Kalangala B e Bukulula mu Kalungu.
Ssentebe wa LCI Abdu Kayondo ategeezezza nti bano be bamu ku bantu e 250 amagye agassibwa ku nnyanja okulwanyisa envuba embi be gatwalaganya entyagi bwe gaasaanyawo omwalo gw'e Kalangala.
Ndagire ategeezezza nti ye ne nnyina baafumbanga mmere ku mwalo guno ng'amagye mu kubagoba gaboonoonera ebintu bingi kati nga ne bye babadde bazzeemu okwezimba bitokomose.
Mukadde Nnabakooza annyonnyodde nti abaadde yaakasumatuka akabenje ka ppikippiki mwe baamutungira ku liiso kati nga livaamu amasira n'akolimira omuntu amukoledde ettima okumuleka mu bbanga.
Jjajja Kyannaggolo agattako nti eggulo limu yagenzeeko ewa muwala we Mary Kyomuhangi okutunda embaata ye agifunemu ssente ez'okumuzaayo mu ddwaliiro beekebejje eriiso.
Wabula yalemereddwa okudda olwa kafiyu n'asulayo ng'abadde akomawo ku makya n'akubirwa ssimu nti enju ye bajokezza n'efuuka muyonga.
Abadduukirize bategezeezezza nti ennyumba yakute omuliro ku ssaawa bbiri ez'ekiro kyokka olw'embuyaga eyabadde ekunta yabalemesezza okusinza omuliro amaaanyi ne bataguzikiza.
Beegasse ku Jjajja Kyannaggolo n'abaana be okubasabira obuyambi mu bakulembeze n'abazirakisa babayambeko wadde nga babasondeddeyo ku bintu batandikire okwo.
Jjajja Kyannaggolo agambye nti talina gw'atebeereza okumukolera ttima nga yenna akimukoze amukwasizza Katonda.





