Uganda yeemulugunyirizza Rwanda ku ky'ettemu omwafiiridde abantu 2

Kino kyaddiridde abajaasi ba Rwanda okuyingira Uganda mu kabuga Hamisavu mu disitulikiti y’e Rukiga ne batta abantu babiri okwabadde Munnayuganda Alex Nyesiga n’omutuuze w’e Rwanda, John Batista Kyerengye.

GAVUMENTI ya Uganda yeemulugunyirizza Rwanda mu butongole olw'abajaasi baayo abaayingidde mu Uganda ne batta abantu babiri.

Minisitule y'ensonga z'ebweru eya Uganda yawandiikidde eya Rwanda nga yeemulugunya   nti nnennyamivu olw'ettemu eryakoleddwa abajaasi ba Rwanda ku ttaka lya Uganda.

Kino kyaddiridde abajaasi ba Rwanda okuyingira Uganda mu kabuga Hamisavu mu disitulikiti y'e Rukiga ne batta abantu babiri okwabadde  Munnayuganda Alex Nyesiga  n'omutuuze w'e Rwanda, John Batista Kyerengye.

Kigambibwa nti Kyerengye eyabadde ku pikikpiki yabadde agezaako okuyingira Rwanda n'ebyamaguzi kyokka bwe yalabye abaserikale kwe kukomawo mu Uganda. Abajaasi baamugoberedde ne bamukuba amasasi mu mutwe n'afiirawo era tebaakomye awo ne bakuba ne Munnayuganda  naye n'afa.

Era nti oluvannyuma abajaasi baagezezzaako okutwala omulambo gw'omutuuze w'e Rwanda ku kifuba ne balemererwa. Uganda yagambye nti nneetegefu okuddiza Rwanda omulambo gwayo.

Wabula minisitule y'e Rwanda ey'ensonga z'ebweru nayo yafulumizza ekiwandiiko nga yeegaana ebyayogeddwa Uganda n'egamba  nti abantu battiddwa ku ttaka lyayo.

Yategeezezza nti eyattiddwa yabadde akukusa byamaguza abaserikale bwe baagezezzaako okumukwata n'awalira era ekibinja ky'abantu abaabadde bakutte ebijambiya ne bagezaako okulumba abaserikale ba Rwanda nabo ne bazzaayo omuliro nga bakuba amasasi agasse abantu abo.