UNRA egobye abasuubuzi mu butale ku Kaleerwe

Jun 07, 2020

ABASUUBUZI abasoba mu 1,000 ababadde balemera mu bibangirizi by’enguudo ku Kaleerwe, baagobeddwaawo UNRA n’etandika okuzimbawo ettaawo eriyunga oluguudo luno ku Northern bypass.

Abasuubuzi bano babadde mu bibangirizi by'enguudo ebyetoolodde obutale bwa Kaleerwe nga bitwaliramu ne paakingi awabadde wasimba mmotoka za bakasitoma abazze mu katale okugula ebintu.

Fred Sepuya omukulembeze wa Bivamuntuyo yagambye nti ekitongole kya UNRA kyali kyayagala dda okugoba abasuubuzi bano emyaka ena egiyise nga kyalaga ensalo zaakyo nga baagala okukulaakulanya ekifo.

Annet Nakitto yagambye nti abamu ku basuubuzi ababadde bakolera mu bibangirizi bino beeyunze ku butale obwenjawulo obumeruseewo mu kitundu.

Mungi Serumaga Kansala w'ekitundu kino ekya Makerere III omusangibwa obutale buno yagambye nti abasuubuzi ababadde bakolera mu kibangirizi ebitundu 80 ku 100 balina emidaala mu butale bwa Kaleerwe kyokka nga babadde beewaggula ne batandika okukolera mu kibangirizi ky'enguudo.

Mungi yagambye nti ettaawo lino erizimbibwa ligenda kuyambako okukeendeza omujjuzo gw'ebidduka ebibadde bifuuse ekizibu mu kitundu kino.

Yayongeddeko nti bakasitoma abamu babadde balemererwa okukyama mu butale ku Kaleerwe olw'akalippagano k'ebidduka.

Abalala nga balemesebwa kubanga babulwa paakingi olw'omujjuzo gw'abasuubuzi abayalirirawo ebyamaguzi byabwe ne babulwa we basimba mmotoka.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju yagambye nti abasuubuzi bano babadde bakolera mu kifo kino mu bukyamu kubanga bino bibangirizi ebyalekebwawo UNRA nga yali yamala dda okubirambika nti bagenda bikulaakulanya.

Yayongeddeko nti baalwawo okubaggyawo nga balemerawo naye kino kye kiseera ekituufu kubanga UNRA yatandise okukola emirimu gyayo okulaba ng'ekulaakulanya ekifo kino.

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});