Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo mu ggwanga ki Uganda Communications Commission (UCC) batenderezza Vision Group olw'empeereza etuuka ku buli munnayuganda okuyita mu mikutu gyayo egy'enjawulo mu nnimi zaabwe ekiyambye okutumbula embeera z'abantu. Bano okusiima babadde bakyaddeko ku kitebe kyaffe mu industrial area nga beetegekera ekivvulu kya firimu z’ebinnayuganda eky’omwaka guno.