Akakiiko akavunanyizibwa ku kulungamywa ebyempuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communications Commission kalabudde nga bwekatagenda kuttira muntu yenna kuliiso anasangibwa ngakozesa ebizindaalo oba ebyuma byempuliziganya okubaawo obubaka bwayisaako nga tasoose kufuna lukusa okuva eri akakiiko kano.