Ababaka ba paalamenti abatuula ku kakiiko akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE bakiikidde ensingo sipiika Anita Among oluvannyuma lw’okukayimiriza okunoonyereza ku nsonga z’okuwa omugagga Hamis Kiggundu omwala gw’e Nakivubo agukulaakulanye.