Amawulire

Ow’e Mukono atutte akakiiko akagaba emirimu mu kkooti

OMUTUUZE mu disitulikiti y’e Mukono addukidde mu kkooti enkulu ng’ayagala eragire akakiiko akagaba emirimu aka Public Service Commission (PSC), kakkirize akakiiko ka disitulikiti y’e Mukono ak’emirimu okutandika okukola kubanga kizihhaamizza enzirukanya y’emirimu.

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUTUUZE mu disitulikiti y’e Mukono addukidde mu kkooti enkulu ng’ayagala eragire akakiiko akagaba emirimu aka Public Service Commission (PSC), kakkirize akakiiko ka disitulikiti y’e Mukono ak’emirimu okutandika okukola kubanga kizihhaamizza enzirukanya y’emirimu.
Samuel Busulwa, ow’e Lunnya mu muluka gw’e Waggalamu e Naggojje ng’ayita mu bannamateeka aba M/s Nsubuga K.S and Company Advocates ye yagenze mu kkooti enkulu e Mukono.
Empapula za Busulwa eziroopa omusango kkooti yazifunye nga February 20, 2023. Ayagala kkooti esazeemu okusalawo kw’akakiiko akagaba emirimu, okugaana ebyatuukibwako disitulikiti y’e Mukono ku bammemba abalina okutuula ku kakiiko akagaba emirimu okuli Godfrey Kibuuka Kisuule ng’ono yaweerezebwa nga ssentebe ne Sarah Katumba eyaweerezebwa ng’omukiise akiikirira ebibuga mu kakiiko kano.
Ono era ayagala kkooti ekiragire akakiiko kakkirize amannya gonna agaaweerezebwa disitulikiti oluvannyuma lw’okuyisibwa kkanso okuli; Kibuuka nga ssentebe, Arthur Blick Mugerwa ng’akiikirira abaliko obulemu, Badru Idris Semakula, Lydia Nakachwa ne Sarah Katumba.
Busulwa era ayagala kkooti eragire erinnya lya Stella Margaret Kiondo ng’ono aba kakikko akagaba emirimu gwe bagamba nti ssentebe gw’alina okuweereza mu kkanso era erinnya lye baliyise ng’akiikirira ebibuga mu kakiiko akagaba emirimu sso si Sarah Katumba nga bwe baawandiikira ssentebe wa disitulikiti, Rev. Peter Bakaluba Mukasa mu bbaluwa ya nga Januery 19.
Yasabye kkooti erangirire nti tagwanidde kutuula ku kakiiko kano kuba aliko emivuyo gye yeenyigiramu.
Kiondo ye yali ssentebe w’akiiko kano ekisanja ekikyasembyeyo wabula ng’okusinziira ku ssentebe Bakaluba, waliwo abantu bangi abaamwemulugunyako nga bwe yabasaba enguzi n’abo be yaguza emirimu nga n’abamu oluvannyuma lw’okumuwa ssente ate emirimu teyagibawa. Mu kiseera kino, kkooti tennavaayo kuwa lunaku lwa kuwulirirako musango guno.
Bino webijjidde, nga disitulikiti y’e Mukono eyolekedde okufiirwa ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi bubiri nga zizzibwa mu ggwanika ly’eggwanga ery’ensimbi oluvannyuma lw’okulemererwa okussaawo akakiiko akagaba emirimu nga bagenda kuweza myaka ebiri nga akakiiko kano tekaliiwo.

Tags: