Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavt eyawakati okusoosowa ebitundu gya Buganda ebirimu abantu abangi ng’eteekawo obwenkanya mu ngabanya yensimbi. Asabye ne bannabyafuzi okuwuliziganya nokwesaamu ekitiibwa basobole okumalawo akaleega bikya kebyobufuzi akali mu gwanga ensangi zino. Katikkiro abadde mu lukiiko lwa Buganda olutudde ku Bulange e Mengo mwalabuludde n’abazadde okukomya okutiitiibya abaana kuba bajja kubafuukira ekizibu.