Olugendo lwa Gavumenti ya NRM olw’emyaka 35

Jan 26, 2021

EMYAKA giweze 35 bukya Gavumenti ya NRM ekwata buyinza oluvannyuma lw’olutalo olw’ekiyeekera olwatandika mu mwaka 1981.

Olugendo lwa Gavumenti ya NRM olw’emyaka 35

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Museveni ne banne 27, okuyingira ensiko, baali bawakanya Obote olw’okubba akalulu akaakubwa mu 1980.

Oluvannyuma lw’emyaka etaano ng’olutalo luyinda, abayeekera ba NRA nga bakulemberwa Museveni baawamba obuyinza nga January 26, 1986.

Mu kulwana olutalo baali beesigamye ku nnyingo 10 ze bagamba nti ze zaali zigenda okununula eggwanga okuva mu kunyigirizibwa era nga ze zino;

1. Okussaawo enfuga ya Demokulasiya ewa abantu eddembe okwerondera abakulembeze baabwe.

2. Okuzzaawo Ssemateeka

3. Okutumbula ebyenfuna n’obusuubuzi.

4. Okulwanyisa obusosoze mu mawanga

5. Okutumbula enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala.

6. Okulwanyisa enguzi

7. Okunyweza ebyokwerinda by’eggwanga.

8. Okussaawo enkola ekkiriza abantu ne Gavumenti okukola emirimu.

9. Okutumbula embeera z’abantu n’okutereeza ebitundu ebyali bikoseddwa entalo.

10. Okugonjoola obuzibu bwonna obwajjawo olw’abantu abaali basenguse olw’entalo. Katutunuulire olugendo lwa Gavumenti ya NRM okuva mu mwaka 1986 okutuuka leero.

EMYAKA 1O EGYASOOKA

1 Mu March 1986 nga NRA ky’ejje ewambe, eyali Katikkiro wa Uganda Samson Kisekka yatongoza kaweefube w’okusonda obukadde bwa ddoola 161 ng’ekigendererwa kuzza ngulu ebyenfuna by’eggwanga.

2 NRA olwali okuwamba, yatandikirawo okwogereza obubinja bw’abayeekera obwali butawaanya abantu mu buvanjuba bwa Uganda era abayeekera ba Alice Lakwena ne Peter Otai 3,000 baava mu UNRF ne beegatta ku NRA.

3 Pulezidenti Museveni yatandika okusakira Uganda ensimbi ebweru, bwe yakyala mu Bulaaya mu 1986. Yasakira Uganda obukadde bwa ddoola 125 era nga kino nakyo kyayamba mu kuzimba ebyenfuna ate n’enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala.

4 Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu (Human Rights Commission) kassibwawo mu mateeka mu December wa 1986 okunoonyereza ku bikolwa byonna ebyali birinnyirira eddembe ly’obuntu ebyali bikoleddwa okuva mu 1962 lwe twafuna obwetwaze okutuuka mu 1986.

5 Okuzimba ekisaawe ky’e Namboole; Gavumenti ya NRM yakola endagaano ne China okuwola Uganda obukadde bwa ddoola 21.3 mu 1986 era omulimu gw’okuzimba gwatandika mu 1993 nga gwatongozebwa Pulezidenti Museveni.

6 Okukyusa ssente; Ssiringi ya Uganda yali enaabuuse bw’ogigeraageranya ne ddoola era ng’omuntu yali yeetaaga 1,400/- okugula ddoola emu nga kino kyawaliriza Gavumenti ya NRM okukyusa ssente mu 1987.

7 Okuzimba enguudo; Omulimu gw’okuzimba enguudo gwatandika mu 1987 n’okuzimba oluguudo oluva e Mityana okudda e Fortportal n’okutuusa olwaleero okuzimba enguudo kugenda mu maaso.

8 Okukung’aanya ebirowoozo okukola Ssemateeka; Olukiiko lwa NRC mu 1988, lwayisa etteeka okussaawo olukiiko okunoonya ebirowoozo by’abantu ku Ssemateeka.

9 Okutongoza okuvungisa ssente (Enkola ya Forex Bureau) kyatandikibwawo mu butongole mu Uganda mu 1990.

10 Ekitongole kya Uganda Investments Authority, ekivunaanyizibwa ku Bannamakolero kyatandikibwawo mu 1991 okwanguyiza bamusigansimbi okukolera mu ggwanga.

11 Ekitongole kya URA ekivunaanyizibwa ku kuwooza emisolo kyassibwawo mu 1991 okuyambako okusolooza omusolo nga erimu ku makubo ag’okuyambako okusitula ebyenfuna.

12 Gavumenti z’ebitundu zassibwawo mu 1992 okwongera okusembeza obuweereza eri abantu.

13 Obukulembeze obw’ennono bwazzibwawo mu 1993 okuva lwe bwali bwaggyibwawo mu 1967.

14 Abantu ab’enjawulo okukiikirirwa mu CA nga kuliko; abaliko obulemu, abakozi, abakyala n’abakungu abaali bakiikirira ebibiina byobufuzi nga kino kyatandika mu 1994 okuwa abantu abo omukisa okutuusa eddoboozi lyabwe.

15 Ssemateeka wa 1995, okutereeza obukulembeze, olukiiko lwa CA lwayisa Ssemateeka okussaawo enfuga ennungi ng’abalwanyi ba NRA bwe baasuubiza.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});