Abasoga bali mu keetalo okumaliriza buli kimu ekirina okukolebwa okulaba ng’omukolo gw'embaga ya Kyabazinga, William Gabula Nadiope IV ne Inhebantu Jovia Mutesi egenda okubeerawo leero ku Lwomukaaga ku ssaawa 5:00 nga kukolebwa bulungi.
Ttivi ennene gye baanaanise mu ddiiro ly'olubiri eritemagana ng'omuzira.
Enguudo ez’enjawulo zaazimbiddwako ebiyitirirwa omuli eziraga ku Lutikko e Bugembe awagenda okubeera omukolo gw'embaga, ku nguudo eziraga ku kitebe ekikulu eky’Obwakyabazinga bwa Busoga awamu n'eziraga ku lubiri lwa Igenge Kyabazinga gy’anaasembereza abagenyi be.
Era Abasoga bali mu kukuba embuutu ate abalala nga bwe bazina amazina ag'ebyobuwangwa amasoga mu buli kifo awali ebiyitirirwa ebizimbiddwa mu Jinja City.
Bo Abaswezi baalabiddwako ku kitebe ky’Obwakyabazinga bwa bwa Busoga nga bakuba ebivuga byabwe n’embuutu era abamu ku bo babadde bambadde embugo n’okwesiba ensimbi ku mitwe gyabwe balabiddwa nga bazina amazina amaswezi.
Abasoga nga babinuka amasejjere eggulo limu mu ssanyu ly'okulinda embaga ya Mwenemu.
Ku lubiri e Igenge, Bukedde yasanze nga luyooyooteddwa bulungi era amataala ag’omuluggya gonna gatemagana.
Bukedde yasanze nga basiiga engabo eri munda mwalo mu kkala za bendera ya Busoga era baabadde bamazze okussa mu ddiiro ttivi ennene ekika kya ‘flat screen’ galikwoleka eya yinci 85 ey’ekika kya Hisense.
Ebisenge by’omunda mu lubiri byona by’ayooyooteddwa era bitemagana. Baamaze okussaamu nga bamaze okusaamu amataala ag’ebika ebyenjawulo era Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala yalabiddwa nga alulambuula munda.
Amataala Ag'omulembe Ge Baawanise Mu Lubiri Munda.
Emabega w’olubiri mu luggya lwalwo aba Fotogenix Ltd basimbyeyo weema ezituuza abantu wakati wa 500-1000 buli emu era muteereddwamu amataala amatiribona agagenda okulabisa ekifo obulungi.
Okusinziira ku minisita wa bavubuka mu Busoga era nga y’abadde akulira omulimo ogw’okuyooyoota olubiri lwa Igenge, James Mukembo yategeezezza nti basuubira abagenyi 2000 ku mukolo era nga buli omu bamusuubira okujja ne kkaadi ye emuyita ku mukolo.
Peevumenti zonna ezigenda ku kitebe ekikulu eky’Obwakyabazinga bwa Busoga ne ku Lubiri, zisiigiddwa Langi enjeru n’enzirugavu era zonna zitemagana bulungi.
Oluguudo olugendayo ku Lubiri nga luyooyooteddwa.
Comments
No Comment