Omulabirizi wa Rwenzori Reuben Kisembo era nga ye ssentebe w’olukiiko lwa Rwenzori Cluster olwa kulembeddemu enteekateeka z’okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi abakulisitaayo e Namugongo yeebazizza abantu bonna ababayambyeko mu kutegeka okulamaga kw’omwaka guno.Yeebazizza Pulezidenti Yoweri Museveni ak’ensusso olw’obuyambi bweyabawadde.