Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya UBOS Dr chris Mukiza ategezeza nga bwebasazeewo okwongeramu ennaku mu bitundu awamu gye baataatandika okubala okubala ekikeerezi. Bino abyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku wofiisi zaabwe mu Kampala.