Obwenzi butiisaObwenzi mu akeedi z’e Masaka

GWE abadde akyatenda obwenzi obuli mu akeedi za Kampala, Bukedde bwe yawandiikako gye buvuddeko, oli ku bikadde!

Emu ku akeedi z’omu kibuga Masaka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GWE abadde akyatenda obwenzi obuli mu akeedi za Kampala, Bukedde bwe yawandiikako gye buvuddeko, oli ku bikadde!
Bw’onoomanya ebiri mu akeedi z’ekibuga kya Mmeeya Florence Namayanja hhamba ekya Masaka mu Buddu, ojja kutya ensi.
Eno abakazi abakolera mu akeedi ebbula lya bakasitoma baasalawo kulijjuuliriza nga beenyigira mu bikolwa by’obwenzi. Abasajja be bakola nabo obwenzi ba bika byonna okuviira ddala ku ba bodaboda, ababasitulirako emmaali yaabwe okutuuka ku bagagga abava mu disitulikiti ez’enjawulo ababa bazze mu Masaka okulya obulamu.
Okwawukanako ne Kampala gy’osanga nga akeedi ezisinga ziriraanaganye era nga kyangu okufuluma emu n’oyingira endala nga totegedde, e Masaka ezaayo zeesudde amabanga. Bizinensi ezisinga okutambula mwe muli okutunda engoye, ebikozesebwa mu masomero, saluuni ssaako abatunga engoye.
Okunoonyereza Bukedde kwe yakoze kulaga nti abakazi abamu bizinensi zino ziringa ndagiriro (address) abasajja we babasanga, ate abalala bazikozesa nga kamasu kwe bafunira bakasitoma abasajja ababaganza ne babawa ne ssente z’okweyimirizaawo n’okusasula lenti. Waliwo n’abakola obwenzi n’abasajja be bakola nabo ku akeedi era ab’ekika kino tebabawa bingi, abasinga babawa kyamisana oba ekyenkya, olwo omukazi n’amujjulira oluwombo lwe!
Akeedi eziri mu kibuga Masaka kuliko; Muto Plaza, Twin Tower, Kamaggwa House, Kayondo Plaza, City View ne Kiwummulo.
Okumanya ensonga y’obwenzi ekutte akati mu Masaka, abasajja abamu batuuka n’okugaanabakazi baabwe okukolera ku akeedi ezimu nga bagamba nti abakazi baakwo bamanyiddwa okwenyigira mu bwenzi nga babatya okuboonoonera bakazi baabwe.
Waliwo omukyala omu eyategeezezza nti yava mu busomesa okuyingira okusuubula engoye naye bwe yategeeza ku bba n’amuwa akakwakkulizo k’obutapangisa ku akeedi emu ng’agamba nti abakazi abakolerako bamanyiddwa okwenyigira mu bwenzi  

Obukodyo abasuubuzi bwe bakozesa okwenda 

Mu akeedi emu, omukazi bw’asuuza tatawaana kunoonya kasenge, wabula aggyako amataala mu dduuka era byonna biggweera awo. Waliwo abassaawo kateni okuziyiza abayise okulingiza munda mu dduuka. Abakolera ku akeedi eno bwe balaba nga munnaabwe aggyeeko ettaala bamanya nti abali munda bali mu kwegabira masaza, era ne bw’aba kasitoma nga y’ayagala okuyingira tebamuganya, bamugamba nga nnannyini dduuka bw’aliko w’alaze.
l Abawala abato abakola mu akeedi bakozesa akakodyo k’okwambala mu ngeri esikiriza abasajja olwo ne batuula mu ngeri y’okwetega era bw’afuna amutwala tebaddamu kumulabako okutuusa enkeera.
l Waliwo babbulooka b’abakazi nga bano omulimu gwabwe gwa kufunira basajja bagagga abakazi ababawummuza.
l Abakazi abamu bafumba mu malya agawerako; okugeza ayinza okuba ng’alina omusajja e Masaka, Kyotera ne Kampala nga gano agagendamu mu ngeri y’okwefuula nti agenze kusuubula.
l Abamu obwenzi babukola n’abasajja abakolera ku akeedi zino. Ab’ekika kino oluusi basinga kubasasulamu kubagulira byakulya naddala ekyenkya n’ekyemisana.
l Abakazi abamu obwenzi babukolera wabweru wa kibuga. Waliwo abalinnya ne bagenda e Sembabule ate abalala batindigga lw’e Kampala bw’aba alina omusajja amukwanye. Abakola obw’ekika kino ayinza okukeera n’aggulawo edduuka oba okulongoosa saluuni ye olwo n’alekera muliraanwa we obuvunaanyizibwa okusigala ng’amutundirako, w’akomerawo ky’asangawo ky’atwala.
l Waliwo akeedi emanyiddwa okubaako bakayungirizi era ng’abagagga mu disitulikiti y’e Lyantonde ne Mbarara we bakasibira. Kigambibwa nti bakayungirizi bano bakubira abawala be bamanyi nga bassereebu ne babategeeza nga bwe waliwo ddiiru era eno ebeera yaakusula oba kusiiba na mugagga abeera amusiimye.
l Ku akeedi endala, abakolerako bamanyiddwa nti amaduuka bagaggulawo ku ssaawa 5:00 ez’emisana olwo ne bagaggala ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi ekyewuunyisa bannaabwe. Abakolerako kigambibwa nti obwenzi babukeera ku maliiri nga mmisa oba okubukola akawungeezi nga bannyuse. Ab’ekika kino ayinza okukeera ku makya n’ava awaka n’abaako gy’ayitira n’omuntu we, olwo n’alyoka ajja mu kibuga okuggulawo edduuka. Bw’aba takedde, annyuka 11:00 ez’akawungeezi ne yeetetenkanya, olwo we ziwerera essaawa 2:00 abasinga ze batuukiramu awaka, naye abeera mutaka

Ebivaako abakolera mu akeedi z’e Masaka okwetunda

1. Bizinensi obutatambula bulungi; Bakasitoma beeyuna Ekikuubo olwo mu akeedi ne baba batono ddala. Abasinga okubagulako baba mikwano gwabwe ate nga nabo ensasula si nnungi. Okugeza ekiteeteeyi eky’emutwalo 10 ayinza okusisasulira emyezi ebiri ekibakaluubiriza okufuna ssente z’obupangisa.
2. Emitima eminafu n’okwegomba nabyo bisindise bangi mu bwenzi. Bangi tebakyafaayo ku nsonga y’okwekuuma endwadde z’ekikaba ne siriimu.
3. Sarah Nantumbwe, omu ku bakolera mu akeedi e Masaka yagambye nti beetaaga emisomo egikwata ku byobulamu kitangire abavubuka okwenyigira mu bwenzi. Yagambye nti bizinensi ezisinga zaasaanawo mu biseera bya Covid nga n’ezaasigalawo bannyini zo batya kudda mu kyalo